Engeri gy'olina okwerabiriramu ng'oli nnakawere
Jan 25, 2024
OKUZAALA kirabo okuva eri Katonda era abaana baleeta essanyu mu bazadde wadde nga kubeera kusimattuka ntaana eri bamaama abakuyitamu. Wabula abantu bangi ebakimanyi nti, omukyala okufa takuyitako ku ssaawa ya kuzaala yokka wabula n’ekiseera ekiddirira ssinga talabiriddwa bulungi kyangu okufiirwa obulamu.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUZAALA kirabo okuva eri Katonda era abaana baleeta essanyu mu bazadde wadde nga kubeera kusimattuka ntaana eri bamaama abakuyitamu. Wabula abantu bangi ebakimanyi nti, omukyala okufa takuyitako ku ssaawa ya kuzaala yokka wabula n’ekiseera ekiddirira ssinga talabiriddwa bulungi kyangu okufiirwa obulamu.
Margaret Arurunga omutuuze w’e Old Kampala yafuna obuzibu nga nnakawere, agamba nti: Nnafuna obuzibu nga nnaakazaala omwana wange asooka nga kyava ku kukola nnyo mirimu.
Nakutamanga nnyo ne kivaako omugongo okunnuma n’omutwe okuntujja nga kyammalako ebbanga ddene okutuusa lwe nagenda ew’omusawo okunkebera.Omusawo yandagira okukendeeza ku mirimu gye nkola n’okwewa akaseera akawummula nsobole okutereera.
Okulya obulungi ate mu budde, n’okumira eddagala eryampeebwa ng’omusango bwe yandagira.
Bwe nafuna olubuto olwokubiri nneesunga okwerabirira obulungi mu bwannakawere era nayita muganda wange n’annyamba bimu nga okumira eddagala ate n’okunfumbira ne ndya bulungi.
Era ku mulundi guno sifunye buzibu mu bwannakawere.
ENGERI GYE WEERABIRIRA MU BWANNAKAWERE N’OSSUUKA MANGU
Dr. Emmanuel Katende, mu ddwaaliro lya yunivasite e Makerere alaga engeri gye weerabirira mu bwannakawere n’owona bulungi nga ggwe n’omwana temufunye buzibu. 1. Okuwummula ekimala: Nnakawere emirundi mingi omubiri gwe gubeera gukendedde ebirungobyonna ate ng’afulumizza omusaayi mungi, noolwekyo
omubiri okwetereeza n’okuzzaayo ebyo bye gufiiriddwa nga maama ali lubuto ne mu kuzaala gubeera gwetaaga okuwa obudde obuwummula okumala ekiseera ekiwerako.
Era singa takikola, kyangu okulumwa omutwe oba okufuna kammunguluze olw’omusaayi omutono, ate n’okulumwa omugongo kuba amagumba gaba tegannaddamu kutereera bulungi na kuguma,.
Kino emirundi mingi kivuddeko abakyala okufuna obuvune obw’olubeerera naddala ku mugongo oluusi n’okufa.
2. Okulya emmere mu budde : Nnakawere asaana okulya emmere mu budde ate nga
yokya si ya mawolu. Kino kimuyamba okumunyiga munda n’okufuna ebbugumu n’atereera ssaako okuyamba omubiri okufuna amaanyi n’ebiriisa ebyetaagisa okukola amabeera agayonkebwa omwana. Nnakawere talinda njala kumuluma mukyala eyaakamala okuzaala alina okulya mangu emmere mu budde nga talinze kulumwa njala.
Kuuma ebbugumu ly’omubiri ku lw’omwana
3. Okunywa ennyo ebibala n’omubisi oguva mu bibala : Ebibala nga wootameroni, emiyembe, beetroot, obutunda n’ebirala bizzaamu nnakawere omusaayi ate nga agwetaaga nnyo engeri gy’abeera yafulumya omungi mu kuzaala.
Bino asobola okubikamulan’anywerawo omubisi nga taguterese kumala kiseera kiwanvu kuba olwo biggwaamu ekiriisa, oba asobola okubirya nga biramba awatali kubikolamu, mubisi.
4. Okunywa ennyo ebyokya :
Ebyokya bino biyinza okuba amazzi ameereere, obuugi, amata n’ebirala, biyamba omusaayi ogubeera gwasigala mu lubuto nga gukutte okusaanuuka n’okufuluma ekiwonya nnakawere obuzibu bw’ayinza okufuna singa gusigalamu.
Y’ensonga lwaki bannakawere bangi bajjumbira okunyiga embuto n’amazzi agookya nga baakazaala okufulumya omusaayi guno. Singa gugaana olwo obeera
oyolekedde kukwoza munda.
5. Okwambala ebibugumya : Abakyala abamu balagajjala nga baakazaala ne bambala obugoye obubayisaamu empewo ate nga omubiri gubeera gufulumizza ebbugumu lingi, ekibaleeta okufuna ekitengo oba okunnyogoga. Kino nnyo kyabulabe kuba kisobola okuvaako okufa singa toyambiddwa mu bwangu. Nnakawere osaanye okwambala olugoye olukwata ebbugumu, okwebikka ekimala n’okuuma ebbugumu mu mubiri ate ly’ogabanyizaako omwana nga omusitudde oba okumuyonsa kuba alyetaaga7. Obutapapira bikolwa bya mukwano nga tonnawona na kutereera bulungi nga omukyala: Kya bugunjufu nnakawere okusooka okwewala ensonga z’okwegatta okutuusa ebbanga eggere omusawo ly’akulagira okugeza maama atafunye wuzi oba okupasulwa kyalibadde kirungi n’agumiikiriza wiiki wakati wa nnya ne mukaaga gwe mwezi gumu oba gumu n’ekitundu n’alyoka abyenyigiramu.
Ate atungiddwa kimwetaagisa okulindamu wakati wa wiiki 8 ne 10 gy’emyezi ebiri oba ebiri n’ekitundu. Awo obeera owonye ate nga n’omubiri gwetegese, abatagoberedde bbanga lino abamu bafunye obuzibu bw’okufuna yinfekisoni ate ekisajjula embeera.
8. Okuyonsa ennyo : Nnakawere asaanidde okuyonsa ennyo omwana asobole okukula obulungi ate naye okuddawo amangu, okusala ku mugejjo gwe yafuna ku lubuto, n’ebitundu by’ekyama okwemiima n’okudda mu kikula kyabwo ekituufu.
9. Okukuuma obuyonjo: Nnakawere alina okunaaba buli kaseera n’ayambala engoye ezitukula era nga ngolole kye kimu ne ku mwana. Obuyonjo buyamba nnyo okutangira endwadde eziva ku bucaafu. Kino osaana okisusse naddala nga okyafulumya omusaayi n’amazzi amacaafu nga waakazaala okwewala obuwuka obweyambisa embeera y’obunnyogovu n’ekibugumubugumu okwalula.
10. Obutasiba mangu lubuto :
Abakyala bangi oluzaala ne basiba olubuto nga tebaagala luyiikeyiike eky’obulabe kuba nnabaana abeera tannadda mu kifo kye nga kyangu okumutuusaako obulabe.
11. Okwewala amawolu n’emmere ekaluba: Emmere ekaluba nga; amayuuni, muwogo, capati n’akawunga si birungi ku nnakawere kubanga bikalubya olubuto ate amawolu galusiba n’akaluubirirwa mu kufuluma.
No Comment