Balabudde ku ndya evaako kookolo

Jan 25, 2024

DR. Richard Ekwan, omusawo ku kitongole ekijjanjaba kookolo ekya Cancer Institute e Mulago, akubirizza abantu okwekebezanga obulwadde bwa kookolo buli mwaka, kubanga bw’obuzuula nga bukyali, ojjanjabwa n’owona.

NewVision Reporter
@NewVision

DR. Richard Ekwan, omusawo ku kitongole ekijjanjaba kookolo ekya Cancer Institute e Mulago, akubirizza abantu okwekebezanga obulwadde bwa kookolo buli mwaka, kubanga bw’obuzuula nga bukyali, ojjanjabwa n’owona.
Yabadde mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa abayizi b’essomero lya Agakhan High School e Kampala Mukadde mu muluka gw’e Bukesa mu munisipaali ya Kampala Central, nga bajjukira obulwadde bwa kookolo.
Grace Lubuulwa, omusomesa ku ssomero lino yagambye nti, beetegerezza ng’obulwadde buno bungi mu bantu ate nga bangi tebamanyi nti babulina, kwe kuvaayo okutegeka olusiisira luno, okukebeza abantu b’ekitundu bamanye bwe bayimiridde, ababulina basobole okufuna obujjanjabi nga bukyali.
Dr. Ekwan yalaze nti, kookolo ava ku bintu nga, emmere abantu gye balya enkyamu naddala okulya ebisiike ebiyitiridde, ebintu ebinnyogoga, ebizigo bye beesiiga naddala abeeyerusa, n’enneeyisa omuli, okunywa omwenge, okufuuweeta sigala n’ebiragalalagala.
Agamba nti, buli kitundu ky’omubiri kisobola okufuna kookolo nga n’omu atambulira mu musaayi, ate omulala ava ku ndwadde nga siriimu, obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B ne C).
Yakubirizza abantu okwettanira okukola dduyiro, kubanga ayamba okukuuma obutoffaali bw’omubiri nga bulamu bulungi era bukola okulwanyisa endwadde.
Okukendeeza emmere naddala enkolerere, ennyama nakyo kiyamba. Ate n’okulya ebibala makyo kikulu.
Yalabudde ku kukozesa obuveera ne pulasitiika kuba avaamu ebiragala ebikosa omubiri gw’omuntu.
Fahad Musa, owa yunivasite ya ISBAT abamu ku baavujjiridde olusiisira luno yagambye nti, kookolo bulwadde bwa maanyi mu Uganda era abantu bangi bafiiriddwa abaagalwa baabwe lwa kookolo kye baavudde bavaayo okwenyigiramu.
Grace Mary Kemiyondo, mukulembeze mu zooni ya Kakajjo e Bukesa yeebazizza Agakhan okubakolera olusiisira ekyayambye bangi okwekebeza ebika bya kookolo eby’enjawulo, era abaasangiddwa nga bamulina ne baweebwa amagezi okutandika obujjanjabi na wa gye balina okugenda okubufuna

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});