NewVision Reporter
@NewVision
REV. Father Simon Peter Kabenge okuva mu kigo ky'e Mwererwe avuddeyo n'alabula abakkirizza okwewala okutabika eddiini n'obuwangwa ku bantu abazadde abalongo!
 
Faaza Kabenge okwogera bino yabadde mu kubatiza abaana ba Ssaalongo Ponsiano Ngondwe ku kyalo Gombe mu divizoni y'e Gombe mu Nansana munisipaali.
 
Yategeezezza nti abantu bayitiridde okutabika eby'obuwangwa n'eddiini ku nsonga z'abalongo nga abamu bwe babulwa ate ne  babaleeta mu kkanisa okubatizibwa ekintu ky'agambye nti kikyamu era kikontana n'eddiini.
 

 
Ono era agambye nti abantu balina okumanya obuwangwa bwabwe kuba bangi ekisinze okubatabula emitwe butamanya buwangwa bwabwe.
 
Faaza Kabenge era asabye abantu okuzzaamu bannaabwe amaanyi naddala abo abayita mu kusoomoozebwa okwenjawulo.
 
Ye Ssaalongo Ponsiano Ngondwe agambye nti baasazeewo okwebaza Katonda kuba okufuuka Ssaalongo tekiba kyangu.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});