Enkonge etangira obuwuka obulumba endagabutonde
May 25, 2024
ENKONGE bangi tugimanyidde ku mazzi mu nzizi oba awantu awalegama amazzi oba awayiika ennyo amazzi era terabisa bulungi kifo wabula efumbekeddemu eddagala eriyamba obulamu bw’omuntu.

NewVision Reporter
@NewVision
ENKONGE bangi tugimanyidde ku mazzi mu nzizi oba awantu awalegama amazzi oba awayiika ennyo amazzi era terabisa bulungi kifo wabula efumbekeddemu eddagala eriyamba obulamu bw’omuntu.
Dr. Kizito Mulwana, omukugu mu kujjanjabisa obutonde okuva ku Sefa Organic ku Bombo Road annyonnyola ku bukulu bw’enkonge.
Enkonge mu lulimi lwa ssaayansi eyitibwa ‘Spirulina’ era nga tugisanga ku mazzi agakulukuta era obudde bwe buziba enkonge edda wansi, obudde bwe bukya omusana ne gwaka evaayo n’edda kungulu.
Abantu balina okukimanya nti, enkonge ennungi y’eyo ebeera awali amazzi nga gakulukuta. Eyo esangibwa mu mazzi agalegamye teba nnungi.
Enkonge erimu ebirungo bingi ebigifuula emmere ey’amaanyi mu nsi yonna.
Ebirungi byayo mulimu:
l Enkonge erimu ekiriisa kya Vitamiini okusingira ddala B12eyamba ku musaayi, n’okukuuma obutoffaali bw’omubiri nga bulamu ate n’okukola endagabutonde.
Enkonge eziyiza abakyala obutazaala baana balina mitwe minene ekiva ku butaba na Vitamiini B12 amala mu mubiri.
l Enkonge eyambako abakyala abali embuto okuzaala abaana abagumu nga tebayiikayiika.
l Enkonge eyamba omuntu okufuna otulo ne weebaka bulungi.
l Enkonge ewagala obwongo ne bukola bulungi.
l Enkonge era erimu ebirungo ebirala ebiyamba omubiri nga Iron ayamba mu kukola omusaayi, amino acids nga zino ziyamba mu kuzimba ekiriisa ekizimba omubiri.
l Enkonge eyamba mu kujjanjaba obulwadde ky’eddookooli, ery’omunda n’erizimba wabweru ekiva ku butaba na munnyo mu mubiri, ate nga mu nkonge mwekiri.
l Ejjanjaba obulwadde bw’okukonziba oba obw’omusana mu baana nga kino kiva ku ndya embi.
l Abatalya nnyama waliwo ekirungo bye batafuna bulungi mu mubiri okuli vitamiini B12, calcium ne iodine, enkonge ebayambako okubifuna kubanga ebirina.
l Abakola dduyiro basaanye okwettanira enkonge kubanga ewa amagumba n’ebinywa amaanyi ate nga togikozesezza mu bungi.
l Enkonge eyamba ku baagala okusala amasavu era bw’oba osiiba ekuyamba obutawulira njala.
l Enkonge etta obuwuka obusirikitu naddala ku balina akawuka ka siriimu. Osobola okugikozesa nga bw’omira n’eddagala lyo nga omusawo bw’akulambika
Bw’okozesa enkonge n’ogiganyulwamu
1Si kiringi kufuna nkonge wantu wonna w’osanze n’otandika okugikozesa, kirungi n’ofuna eyo entegeke obulungi okuva mu bakugu be weesiga.
2 Bw’oba ogifunye ku luzzi naddala ez’omu byalo, gyoze mu mazzi agatukula emirundi ejiwera, ogyanike ku lulalagala ekale. Kigitwalira wakati wa wiiki emu n’omwezi.
Kw’olabira nga ekaze bulungi, ekyusa langi okuva mu kiragala n’edda mu nzirugavu.
3 Bw’omala okugikaza gisekule bulungi, ofunemu ensaano.
Buli lunaku omuntu asaanye akozese akatundu k’akajiiko akatono kamu ng’akassa ku mazzi agabuguma n’anywa. Oba okuginywera mu busera oba okugiteeka mu nva.
4 Enkonge terina bulabe bwonna ku mubiri gwa muntu ng’ogikozesezza bulungi. Bw’ogirya tolumwa njala okumala ebbanga ggwanvu era abamu bagikolamu empeke.
Obuwuka obulumba endagabutonde bugobe n’enkonge
bwonna obwalirumbye endagabutonde y’omuntu mu mubiri.
l Bw’oba otera okukubwa kisipi, weekwate enkonge okwewala embeera eyo okukutuukako.
l Abalwala ennyingo, amagulu, amagumba agakubagana oba ageemeketa, eddagala nkonge. Ejja kukuyamba okutereera.
l Omulwadde wa puleesa naddala ng’owulira obukoowu buli kadde ate nga n’eddagala olimira, gattako okukozesa enkonge.
l Enkonge eziyiza obutafuna puleesa. Ekisinga obulungi kugikozesa nga tonnalwala okwetangira ebirwadde ebisinga ebitawaanya emibiri gyaffe.
l Abantu abakolera mu makolero muyingiza emikka emicaafu era enkonge bw’ogikozesa ekuyamba okufulumya obutwa obwo bw’oyingiriza mu mpewo.
l Enkonge eyoza omusaayi ne gutambula bulungi mu mubiri.
l Enkonge ekulira mu mazzi agataliimu munnyo, ebeera mu mazzi ameereere ate n’ekulirawo bulungi awo n’eryoka ejja n’ebirungo byayo byonna omubiri bye gwetaaga.
l Abalina alaje ez’enjawulo, abasiiyibwa omubiri, abaziyira beekwate enkonge.
l Ekola ng’eddagala ku ndwadde y’okukankana oba obuko.
l Enkonge eyambako ku kirwadde ky’okuwuttaala naddala mu bakadde, era ekola bulungi ku bantu abeerabiralabira
l Abalina kookolo nga bali ku bujjanjabi ng’okubakalirira bafuna obulabe bwa maanyi ku ddagala lye bakozesa, kyetaaga ne bongerako enkonge nayo ejja kubayambako okukendeeza ku bulabe obuva mu bujjanjabi bwabwe.
l Enkonge ekenenula obucaafu mu kibumba ne kisigala nga kikola bulungi.
l Enkonge ezzaamu amaanyi mu mubiri.
l Eyamba abaggwaamu omusaayi, ng’abalina siikoseero.
l Eyambako obutakaddiwa kuba omubiri gubeera mugumu.
l Abatawaanyizibwa obulwadde bwa ssukaali enkonge ebayamba
No Comment