Ebintu 10 by'olina okwetegereza nga tonnagula mmotoka yo esooka
Feb 18, 2025
Abantu bangi basalawo okutereka ssente zaabwe okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe naddala okuvuga ku mmotoka.

NewVision Reporter
@NewVision
Abantu bangi basalawo okutereka ssente zaabwe okusobola okutuukiriza ebirooto byabwe naddala okuvuga ku mmotoka.
Omuntu yenna alina ekiruubirirwa eky’okugula emmotoka ye esooka akubirizibwa okufaayo ennyo obutaferebwa.
Bruce Tongire, makanika okuva ku Delo Motors Limited e Kazo agamba nti, omuntu yenna agenda okugula emmotoka ye esooka, alina okubeera omwegendereza okwewala okutomera kubanga abantu abasinga ebintu ebikwatagana ku mmotoka babeera tebabimanyi.
Akulaga by’olina okussaako essira omuli:
1 Kiba kirungi n’ofunayo makanika anaakuyambako okwekebejja emmotoka gy’oba oyagadde okugula okwewala ebizibu eby’okuferebwa n’okufiirizibwa.
2 Faayo ku kifo w’ogenda okugula emmotoka yo esooka kuba waliwo ebifo ebimu by’ogendamu n’osanga abafere anti abantu abamu b’otuukirako babeera ba bbulooka.
3 Kyandibadde kikulu eri omuntu agenda okugula emmotoka ye esooka okwebuuza ku bantu ku bifo eby’okugulamu emmotoka ez’omutindo okwewala ebizibu eby’okukubibwa empewo.
4 Omuntu yenna alina okukebera yingini ya mmotoka oba eri bulungi. Kino kikolebwa omukugu mu kukanika emmotoka n’akebera bulungi oba yingini tebagyikwatangamu. Eno eyamba okutambuza emmotoka obulungi era eteekeddwa okubeera mu mbeera ennungi.
5 Faayo okumanya oba ekyuma ekisumulula nnatti z’omupiira gw’emmotoka (Wheel spana) mwekiri kuba kikuyamba ku kukyusa emipiira.
6 Emmotoka yonna erina okubeera n’omupiira gwa sipeeya nga guno guyambako singa ogumu ku mipiira gubeera gufunye obuzibu oguggyako n’oteekako omulala.
7 Faayo nnyo ku ngeri emmotoka gy’etandikamu naddala okulaba oba emmotoka ekuba etya, omuntu yenna toteekeddwa kubuusa maaso kintu kino nga tonnagula emmotoka yo esooka.
8 Teweerabira okubeera ‘hydraulic’ wa siteeringi ono ng’ayamba ebyuma obuteewagala.
9 Okukebera jjeeke mu mmotoka oba mweri kintu kikulu kuba eyamba okusitula emmotoka ng’efunye obuzibu n’ekanikibwa.
10 Omuntu yenna agenda okugula emmotoka ye esooka alina okufaayo ku katabo (logbook) kaayo okulondoolerwa byonna ebigikolebwako.
Tongire agamba nti, omuntu yenna agula emmotoka ye esooka abeera alina okubeera omwegendereza ennyo era akakase nti, emmotoka gy’asasudde erina kubeera mu mannya ge okwewala okuferebwa mu ngeri yonna.
Wabula mmotoka bw’eba eguliddwa ku muntu abadde agikozesa wano, emirundi mingi bino tebibeeramu ng’olina okubyegulira n’obeera nabyo okwerinda.
No Comment