Ebivaako abantu okugwa mu kinaabiro ne bafa

Apr 03, 2025

Dr. Isaac Kakooza Musago, omusawo omukugu mu kujjanjabisa dduyiro (Physiotherapist) akolera ku Mobile Phyzio e Kansanga, agamba nti, teri kusannyalala kuva mu binaabiro wabula embeera y’okusannyaalala w’ebeera ekukwatidde nga bwe kisobola okutuukawo ng’oli mu kifo ekirala kyonna.

NewVision Reporter
@NewVision

Dr. Isaac Kakooza Musago, omusawo omukugu mu kujjanjabisa dduyiro (Physiotherapist) akolera ku Mobile Phyzio e Kansanga, agamba nti, teri kusannyalala kuva mu binaabiro wabula embeera y’okusannyaalala w’ebeera ekukwatidde nga bwe kisobola okutuukawo ng’oli mu kifo ekirala kyonna.

Era ebisuula abantu mu binaabiro bingi, wadde nga okusannyalala kwe kusinga okuba okw’obulabe naddala nga omuntu tayambiddwa mu bwangu ng’agudde okuweebwa obujjanjabi obwetaagisa. 

 

Embeera esuula abantu mu binaabiro nga yeefaanaanyiriza okusannyalala etera kuva ku kweyiira mazzi agannyogoga omulundi gumu naddala mu bitundu ebya waggulu.

Omubiri bw’oguyiwako amazzi agannyogoga omulundi gumu nga gubadde tegunnamanyiira nkyukakyuka mu mbeera y’obunnyogovu gwekanga.

Ekirala mu mbeera bw’etyo, guvaamu ebbugumu lingi ku misinde egya waggulu ate nga gulyetaaga.

Noolwekyo, okusobola okukendeezaako ku bbugumu lye gufi irwa mu kaseera ako, gussaawo embeera efunza emisuwa ne gyenyiga okukendeeza ku bungi bw’omusaayi n’emisinde kwe gutambulira olw’ensonga nti, omusaayi gwe gutambuliramu ebbugumu omubiri lye gwetaaga.

Wabula kino nakyo kikolebwa ku misinde gya waggulu ate ne kikendeeza ku bungi bw’omusaayi obugenda mu bitundu by’omunda eby’enkizo eri obulamu bw’omuntu ng’omutima n’obwongo.

Era olw’omusaayi ogugenda ku bwongo okukendeera ky’ekivaako omubiri okufunamu okwekanga omuntu n’agwa. Kino kibeerawo buli omuntu lw’atuuka mu mbeera ey’obunnyogovu ng’omubiri gwetaasa gusobole
okusigaza ebbugumu.

Mu mbeera eya bulijjo, kino omubiri gukikola mpolampola, omuntu n’atakosebwa mu mbeera yonna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});