Ebintu ebikozesebwa ebitalina kubula waka

Apr 13, 2025

AMAKA gonna waliwo ebintu ebyeyambisibwa okuzimba byosaana okuba nabyo olubeerera olw’ebwetaavu bwabyo obutaggwaawo.

NewVision Reporter
@NewVision

AMAKA gonna waliwo ebintu ebyeyambisibwa okuzimba byosaana okuba nabyo olubeerera olw’ebwetaavu bwabyo obutaggwaawo.

Yinginiya Vicent Katende owa Treasure Consults agamba ekyewuunyisa ku bintu bino si bya buseere naye bwotabigula weesanga ng’olina okubyeyazika oba okubipangisa okuva ku bantu abalala olw’ebwetaavu bwabyo.

 

Kyokka Katende yalabudde ku nkozesa y’ebintu bino n’agamba nti birina obulabe bwe biba tebikwatiddwa bulungi. Yasabye abazadde okubikuumira ewala okuva ku baana awamu n’obutamala gatuukirwako bantu.

l Ennyondo: Ennyondo kye kimu ku bintu ebitalina kubula waka. Ng’oggyeko okugyeyambisa okukoona emisumaali n’okugiggyamu kyokka era nkulu nnyo mu kunyweza ebintu.

l Eddaala: Kizibu okubeera ng’otuuka ku buli kintu ekiri ku nnyumba waggulu. Okugeza oyinza okuba n’obwetaavu bw’okukuba nnabbubi oba okussaayo bbalubu. Kyokka bwoyimirira ku ddaala kikwanguyira okutuukayo. 

Waliwo amadaala ag’omulembe awamu n’ag’emiti agatali ga buseere.

l Ekitiiyo: Ekitiiyo kye kimu kye kimu ku bintu ebitabulwa mugaso awaka kuba tekibula bye kiyoola awamu n’okugogola waakiri emikutu gy’amazzi. Olwokuba okuzimba tekuggwa, ekiseera kino ne bwobeera olina w’oddaabiriza era kye kimu ku by’osooka okulowoozaako.

l Enkumbi; Enkumbi kyetaago kya maanyi kuba awaka wonna wasuubirwa okumera omuddo ekiseera kyonna oba okweyambisibwa mu nnimiro. Olaba ne bwe mubeera mu bulungi bwansi ku kyalo era enkumbi y’etandikirwako.

l Ejjambiya: Awaka wonna tewabula kintu kyetaagisa kutema ng’omuti, omuddo oba okubaako ekintu ekyetaagisa okutereeza. Kuno kwogatta n’okubeera nga yeeyambisibwa ng’ekyokwerinda awaka.

l Wiirubaalo: Abamu bagiyita Wheel Barrow nga ya mugaso nnyo mu kutikka ebintu ebizito oba eby’okukung’aanya awaka. Ebintu nga seminti, omusenyu, bulooka zanguwa okutambuza nga weeri awamu n’ebintu ebirala nga kasasiro.

l Magalo: Magalo kye kimu ku bintu ebitabula we byeyambisibwa mu kunyweza n’okusumulula. Ebintu bingi awaka bye basibisa emisumaali ng’okubisiba obeera weetaaga magalo. Ne bwobeera okyusa ebintu nga ebitanda ebimu osobola okweyambisa magalo okubisumulula.

Giraavuzi ne gambuutusi ; Olw’okuba awaka tukwata ku bintu bingi ebicaafu, kisaana okwambala giraavuzi nga tukola emirimu egirimu okukwata ku bintu ebiyinza okuba ebyobulabe eri engalo zaffe. Bwoyambala giraavuzi ne gambuutusi obeera ofunye obukuumi obutandikirwako.

Ku lw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde awaka, kirungi okubeera ne ffaani ewujja empewo awaka. Eno mulina kugyeyambisa mu biseera by’ebbugumu. Kyokka ffaani erina okukuumibwa nga nnyonjo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});