Engeri enkyukakyuka mu mbeera y'obudde bw'ekosa endabirwamu y'emmotoka
May 20, 2025
WALIWO oluusi lwe weesanga ng’endabirwamu ya mmotoka yo, naddala ey’omu maaso efunye enjatika nga tewali kigikoonyeko oba okubaluka yonna n’eggwaawo.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
WALIWO oluusi lwe weesanga ng’endabirwamu ya mmotoka yo, naddala ey’omu maaso efunye enjatika nga tewali kigikoonyeko oba okubaluka yonna n’eggwaawo.
Abakugu mu by’endabirwamu z’ebidduka bagamba nti enkyukakyuka y’embeera y’obudde ey’amangu oluusi y’ereetawo kino, endabirwamu n’efuna enjatika n’oluusi okubaluka yonna n’eggwawo.
Embeera evaako kino muzingiramu mmotoka okubeera mu kasana akangi ate amangu ddala endabirwamu ne ziggwaako obunnyogovu bw’amazzi kino ne kiziviirako okwesika okw’amangu ne zibaluka oba okugyamu enjatika.
Jacob Twase eyakuguka mu kugolola mmotoka ssaako n’okuzzaamu endabirwamu ezaatise e Bwaise agamba nti mmotoka bw’eba mu kasana akasukkiridde ng ‘endabirwamu ziri waggulu teyeetaaga kupapira kuyiibwako mazzi.
Agamba nti enjatika zino zijja na nkyukakyuka ya budde ey’amangu okuva mu bbugumu eringi okudda mu bunnyogovu. Kivaako endabirwamu okwewaga oba okwemiima.
Wabula agamba nti ezimu ku njatika mu ndabirwamu eziba zitandiikiriza zisobola okutangirwa obuteeyongerayo nga bayita mu kuwummula mu maaso gaazo mu nkola emanyiddwa nga “stopper” “Kya mugaso buli kiseera okutunuulira endabirwamu ya mmotoka ey’omu maaso okuzuula oba waliwo enjatika ezitandiikiriza okusobola okuzitangira okusaasana nga bukyali,” bwe yagambye.
Yagasseeko nti bwe kiba kisoboka mmotoka yandibadde esimbibwa mu kisiikirize mu budde bw’akasana. Ebirala ebyasa endabirwamu zino kuliko okumansukirwa amayinja mu butanwa n’engeri endala.
No Comment