Omusajja ayagala okusaza nga kalaso mu kisaawe weekwate ka mubiri

Jun 14, 2025

MUBIRI, abantu abasinga bamulekera kujjanjaba lubuto naye nga wa mugaso nnyo eri abasajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe eri muganzi w

By Molly Nakazzi
Journalist @New Vision

MUBIRI, abantu abasinga bamulekera kujjanjaba lubuto naye nga wa mugaso nnyo eri abasajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe eri muganzi we.

Omukugu mu kukola eddagala ery’ekinnansi, Dr. Francis Omujala okuva mu Natural Chemotherapeutics Research Institute (NCRI), agamba nti, buli musajja akozesa mubiri alina okusooka okwebuuza ku bakugu obutafuna buzibu bwonna. 

Mubiri ayamba okuziyiza okuzimba kw’omubiri gw’omusajja ekintu ekimuyamba okukola mu bwangu. 

Alina amazzi ag’obutonde agayamba okutambuza omusaayi ne gutuuka ku buli kitundu ku mubiri gw’omusajja. 

Mubiri ayamba mu kukendeeza situleesi mu mibiri gw’omusajja ekintu ekimusobozesa okukola obulungi. 

Kayamba okujjanjaba kookolo mu basajja asobola okunafuya emirimu gyabwe. 

 Mubiri akuuma enkwaso nga ngimu bulungi.

Omubisi gwa mubiri guyamba okulinnyisa obwagazi awamu n’okuwa omusajja amaanyi. 

Ayamba okukuuma ensigo n’akawago nga biri mu mbeera ennungi. 

Mubiri ayamba okuwa omusajja amaanyi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});