Obuzibu obuyinza okuva mu kutegula emmotoka

Jun 14, 2025

ABAVUZI b’emmotoka eza ggiya bamanyi okugayaala okugula bbaatule naddala nga zikaddiye kubanga bamanyi emmotoka asobola okugitegula n’eyaka ekitali ku mmotoka za automatiki.

By Samuel Kanyike
Journalist @New Vision

ABAVUZI b’emmotoka eza ggiya bamanyi okugayaala okugula bbaatule naddala nga zikaddiye kubanga bamanyi emmotoka asobola okugitegula n’eyaka ekitali ku mmotoka za automatiki.

David Semakula, omusuubuzi wa bbaatule za mmotoka agamba nti, okufaananako n’ebintu ebirala bbaatule zituusa ekiseera ne zinafuwa oba okwonooneka. Ezisinga zitera kumala emyaka ng’ebiri okuva lwe zaakolebwa, era kino kirambikibwa butereevu kungulu waazo.

 

Ebitera okulemesa bbaatule okukola obulungi mulimu:

Okuggwaamu amazzi okumala ekiseera nga tokitegedde, okusiba obubi ebikondo, okweyambisa bbaatule ey’amaanyi amatono okusinziira ku maanyi ga yingini nakyo kiginafuya.

Okuva ku bikyamu ebirala ku mmotoka nga bbaatule tekyaginga oba ng’eriko ebintu ebisigalako oluvannyuma lw’okugizikiza.

Mu mbeera eno oluusi bwegaana okwaka ng’otaddemu ekisumuluzo baddereeva abamu basalawo emmotoka okugitegula etere eyake.

OBULABE MU KUTEGULA EMMOTOKA
Joseph Luswata, makanika w’ebidduka agamba nti, okutegula emmotoka kya bulabe.

l Ng’oggyeeko okwonoona emmotoka, bw’ogitegula emmotoka eyinza okulemwa okusiba n’eyingirira abantu oba ekizimbe ekiri okumpi.

l Okwekanga emmotoka kweyitamu ng’eteguddwa mu kugyakisa kwonoona ebikondo ebikwata yingini mu mmotoka.

l Kyangu kya mmotoka okukwata omuliro singa ebaako waya ezeegasse.

l Yingini ne ggiya bookisi bikosebwa kubanga mu kutegula oggyamu ggiya n’olinnya kulaaki mangu ate n’ogiggyako ekigere okuzzaamu ggiya.

l Ku mmotoka ez’emyaka emimpi mu kutegula siteeringi yeesiba ekitegeeza tosobola kugikyusa era kyangu okutomera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});