POLIISI e Ntebe eri mu kubuuliriza ku mukyala omufumbo eyasaliddwa obulago n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro e Ntebe.
Carol Nakigudde 22 ng'abadde mutuuze womu Kitooro e Ntebe, ye yafudde oluvannyuma lw'okufuna obutakaanya ne bba Husama Mukiibi nga kigambibwa nti entabwe yavudde ku ssente.
Kitegeezeddwa nti omukyala ono, yabadde alina okufuna shs 450,000/ ez'ekibiina nti era nga zaawereddwa bba n'atazimuwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti bwe baafunye obutakaanya nti Nakigudde kwe kwesala obulago ne bamuddusa mu ddwaaliro e Ntebe gye yafiiridde ekiro ekyo