LUTIKKO y’e Lubaga yawuumye ng’abafumbo abaagattibwa mu Lutikko eno abeegattira mu kibiina kya Tuesday Class Alumni Association bakuza olunaku lwabwe olwa buli mwaka n’okujaguza nga bwe giweze emyaka etaano bukya kibiina kino kitandikibwawo.
Bano baayambadde ne banana ng’abakyala beekozeeko okuggyirayo ddala ekifaananyi ekyaliwo ku lunaku lwe baakuba ebirayiro eby’okunywerera mu bufumbo bwabwe okutuusa okufa.
Omukolo ogwabaddeyo ku Ssande, gwatandise n’ekitambiro kya Mmisa ekyakulembeddwa akulira Namugongo Kyoto, Msgr. Wynand Katende ng’ayambibwako bwanamukulu w’e Lubaga, Rev. Fr. Achilles Mayanja ne Bafaaza abalala.
Msgr. Katende yasabye abakyala okujjukira nti bulijjo omwami gwe mutwe gw’amaka era n’abakuutira okukimanya nti omukazi ne bw’aba y’asinga bba ssente, alina okusigala ng’akimanyi nti akulemberwa musajja mu maka era ng’alina okumuteeka mu nteekateeka zonna z’akola.
Omugenyi omukulu yabadde omubaka omukazi owa Wakiso mu Palamenti, Betty Ethel Naluyima eyasabye Bannayuganda okusabira eggwanga libeemu emirembe buli muntu alyeyagaliremu