Isabirye atandise eya Bul FC
May 05, 2021
ALEX Isabirye omutendesi wa BUL FC omuggya atandika leero (Lwakusatu) okulaga waaka ng’anoonyeza ttiimu ye wiini ku mupiira ggwe ogusooka sizoni eno.

NewVision Reporter
@NewVision
BUL FC – Kigezi Home Boys, Bugembe
KCCA FC – Maroons, Lugogo
Bright Stars – Police, Kavumba
Abazannyi ba BUL mu ssanyu gye buvuddeko
Isabirye yeegasse ku Bul wiiki ewedde ng’adda mu bigere bya Arthur Kyesiimira eyakwatibwa ku nkoona olw’omutindo ogw’ekiboggwe, yaweereddwa endagaano ya sizoni eno yokka n’oluvannyuma batunule mu bw’akoze okwongezaayo endagaano ye.
Guno mulundi gwa kubiri nga Isabirye atendeka Bul FC, yaliyo mu 2015 – 2017 wabula leero(Lwakusatu May 5, 2021) aggulawo ng’akyazizza Kigezi Home Boys eya Big League mu mpaka za Stanbic Uganda Cup ku kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe.
Twinamatsiko ku kkono ne Sabiiti Spencer pulezidenti wa ttiimu
Ttiimu zombi ziri ku mutendera gwa ttiimu 16, oluzannya olusooka ng’oluvannyuma Bul ejja kukyalira Kigezi e Kabale okufunako aneesogga ‘quarter’ fayinolo za ‘Uganda Cup." Guno gwe mupiira Isabirye gw’alina okulagirako waaka nga bwe yeetegekera okukyaza Mbarara City mu liigi ya babinywera ku Lwomukaaga lwa wiiki eno (May 7, 2021). Alex Isabirye ku kkono ne David Mutono Katono (2)
Mark Twinamatsiko atendeka Kigezi Home Boys agamba nti teri ttiimu etuuka wano nga nnafu era bagenda kufa n’omuntu okufunayo ggoolo ez’omugaso ku bugenyi.
No Comment