Ssekamatte, Ocen, Mboowa ne Kajoba bavuganya ku kirabo kya Pilsner

May 06, 2021

NGA yaakamala okusitukira mu kirabo ky’omuzannyi w’omwezi oguwedde okuva mu Real Star Sports Agency, Samuel Kayongo Ssekamatte omuteebi wa Soltilo Bright Stars FC ateereddwa ku lukalala lw’abavuganya ku kirabo kye kimu okuva mu Pilsner.

NewVision Reporter
@NewVision

Buli mwezi Nile Breweries abasogozi ba Pilsner basiima abasambi n’abatendesi abasukkulumye ku bannaabwe mu liigi y’eggwanga enkulu eya ‘Star Times Uganda Premier League’ wabula mu lukalala olw’abavuganya ku ky’omwezi oguwedde Ssekamatte talubuzzeeko.

Joselyn Uchanda ku kkono ng'akwasa Ssekamatte ekirabo kya Real Star Sports Agency (1)

Joselyn Uchanda ku kkono ng'akwasa Ssekamatte ekirabo kya Real Star Sports Agency (1)

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno aba Real Star Sports Agency baamulonze ng’omuzannyi w’omupiira eyasinze ne ggoolo 8 ze yateebye mu mwezi oguwedde nga yamezze Yunusu Ssentamu (owa SC Vipers) ne Shafik Kagimu(URA FC).

Mboowa

Mboowa

Omulundi guno ku kirabo kya ‘Star Times Uganda Premier League Pilsner Award’ Ssekamatte avuganya Ben Ocen (Police FC) ate Fred Kajoba(SC Vipers) eyawangula eky’omutendesi eyasinga omwezi gwa ‘February 2021’ avuganya Baker Mboowa owa Soltilo Bright Stars.Kajoba

Kajoba

Omutendesi Mboowa n’omuteebi Ssekamatte bayambye Soltilo Bright Stars okuwangula emipiira etaano mu mwezi oguwedde (April), amaliri ga mulundi gumu ate tebakubiddwaamu.

Kajoba ayambye SC Vipers okufuna wiini nnya(4) mu mipiira 6, amaliri ga mulundi gumu ate ne bakubwa gumu.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});