Kisala ne Aheebwa basitukidde mu birabo by'omwezi oguwedde okuva mu Pilsner

Jan 07, 2021

OMUTENDESI wa UPDF FC Kefa Kisala amezze Sam Ssimbwa owa URA FC ku kirabo kya Pilsner eky’omutendesi asinze omwezi oguwedde(December)mu liigi ya babinywera.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino kiddiridde UPDF FC okuwangula emipiira 4 kw'etaano gye basambye ate URA n'ewangula esatu n'amaliri ga mirundi ebiri.

 "Obuwanguzi buno buvudde ku bumu bwa ttiimu, akakiiko ake'ebyekikugu era ndaba ng'ekirooto kyaffe kye twalina ku ntandikwa ya sizoni eky'okumalira mu bifo ebitaano ebisooka kisobokera ddala okutuukirira, olugendo lukyali luwanvu naye tusinzidde," Kisala bwe yategeezezza.

Mu ngeri y'emu omuteebi wa KCCA FC Brian Aheebwa yasitukidde mu ky'omuzannyi w'omwezi oluvannyuma lw'okuteeba ggoolo 7 mu mipiira etaano n'amegga Brian Kalumba (6) owa UPDF FC ne Ben Ocen(Police FC).

Omukolo guno gubadde ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo ku Lwobiri (January 5, 2020).

UPDF FC ekulembedde liigi n'obubonero 12, eddiriddwa URA FC (11) ne Police FC (10). Ekitundu kya liigi ekyokubiri kiddamu omwezi ogujja.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});