KCCA erumbye Bul ng'eriko obusungu bwa Villa ne URA
Feb 12, 2021
EMIPIIRA 6 mu bisaawe eby’enjawulo gye gigenda okuggulawo leero oluzannya lwa liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League. Liigi ebadde emaze omwezi gumu n’ekitundu ng’ewummudde olwa Cranes okwetaba mu mpaka za CHAN wabula kati ekomyewo ttiimu ziddemu okubbinkana. Vipers eyali ebuzaayo emipiira ebiri, yagizannye era kati buli ttiimu erina emipiira etaano.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya HUSSEIN BUKENYA BUL- KCCA FC, Bugembe Bright Stars - Airtel Kitara Mbarara - Wakiso Giants, Wakiso Police – Kyetume, Lugogo
EMIPIIRA 6 mu bisaawe eby’enjawulo gye gigenda okuggulawo leero oluzannya lwa liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League. Liigi ebadde emaze omwezi gumu n’ekitundu ng’ewummudde olwa Cranes okwetaba mu mpaka za CHAN wabula kati ekomyewo ttiimu ziddemu okubbinkana. Vipers eyali ebuzaayo emipiira ebiri, yagizannye era kati buli ttiimu erina emipiira etaano.
EMIPIIRA EGIRIYO Ogwa BUL ne KCCA guli Bugembe; KCCA yakubwa emipiira ebiri egyasembayo okwali ogwa SC Villa ne URA ggoolo 2-1 buli gumu. Mike Mutebi atendeka KCCA yagambye nti ensobi ezaaliwo yazigolodde era abawagizi basuubire okutandika n’obuwanguzi.
Nga bakubwa emipiira egyo, abazannyi ba KCCA abamu baalina corona ne basubwa okugizannya wabula kati Mutebi yagambye nti buli omu waali okuggyako John Revita, Julius Poloto n’abalala. Ku BUL yannyonnyodde nti wadde teri bulungi tebagenda kuginyooma kuba beetaaga bubonero.
Sizoni ewedde, BUL bwe yakyaza KCCA yaguwangula 3-0 wabula kino Mutebi takitidde kuba abazannyi be balina ennyonta y’okuwangula omupiira guno. KCCA eri mu kya kutaa- no n’obubonero 9 ate BUL ya 12 ku bubonero 4 mu mipiira 5.
KCCA yeesize Brian Aheebwa eyayolesa omutindo omusuffu mu mipiira etaano egyasoose mwe yateebera ggoolo 7. Police – Kyetume, Police Omutendesi wa Police FC, Abdallah Mubiru asuubizza okusabuukulula obukodyo obukambwe bwe yaggye mu mpaka za CHAN gye yabadde ne Cranes e Cameroon.
Battunka ne Kyetume e Lugogo mu nsiike egenda okwawula Mubiru ne Mbabazi bombi abamyuka ba Johnathan McKinstry ku Cranes. Obuzibu eri ttiimu ya Mubiru, be bassita be Tony Mawejje, Ben Ocen abaafuna obufune nga bali ne Cranes saako Frank Tumwesigye eyabasooka okulwala.
No Comment