Omutendesi Mboowa amezze Kajoba ku ky'omwezi gwa April

May 10, 2021

Omutendesi wa Soltilo Bright Stars Baker Mbowa agudde mu bintu bw’alondeddwa ku butendesi bw’omwezi gwa April ate omuteebi waayo n’alondebwa ku ky’obuzannyi bw’omwezi ogwo.

NewVision Reporter
@NewVision

Aba Uganda Premier League be bawadde abantu bano bombi ebirabo by’omwezi gwa April.

Mbowa yalondeddwa lwa kiraabu ye okusamba emipiira mukaaga mu April n’ewangulako etaano ate n’alemagana gumu era ng’abantu ba bulijjo abaalondedde ku mukutu gwa yintaneti abaamuwadde obululu 78 ate Fred Kajoba bwe babadde bavuganyiza ekifo ekyo eyafunye 24.

Ate mu bazannyi Samuel Ssekamate era owa Bright Stars yawangudde ekifo kino bwe yateebye ggoolo 6 mu mipiira mukaaga era n’ayamba n’omuzannyi omulala okuteeba.

Yamezze omuzannyi wa Police FC Ben Ocen eyateebye ggoolo 5 era n’ayambayo omuzannyi omulala okuteeba.

Bombi baafunye ebikopo wamu n’ensimbi 1,000,000/=.

Mbowa yakiikiriddwa akulira emirimu mu kiraabu eyo, (CEO), Mathias Mugwanya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});