Aba NUP beefuze obwakkansala
Jan 22, 2021
OKULONDA bakkansala ab’ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli ne ttawuni kkanso ng’awamu ziri 18, kkansala omu yekka owa NRM ye yayiseemu mu kalulu, abasigadde ba NUP.

NewVision Reporter
@NewVision
OKULONDA bakkansala ab’ekibiina kya NUP baakwefuze. E Mukono mu magombolola gonna agakola disitulikiti eno okuli ne ttawuni kkanso ng’awamu ziri 18, kkansala omu yekka owa NRM ye yayiseemu mu kalulu, abasigadde ba NUP.
Emmanuel Mbonye ye kkansala wa NRM yekka eyasimattuse obusungu bw’abalonzi ng’ono ava mu ggombolola y’e Mpatta. Mbonye y’abadde sipiika w’olukiiko lwa
disitulikiti y’e Mukono olumaliriza ekisanja kino.
Kansala
Aba NUP abaayiseemu kuliko; Hope Betty Nakasi owa Mukono Central division, Jorem Kimera Kabali owa Naggojje, Nathan Afende Wampi, Jimmy Kalinda owa Ggulu-Ntaawo, Ezra Nkolo ow’eggombolola y’e Ntunda, Joel Mubiru Kaaka ow’eggombolola
y’e Mpunge ne Benard Ssempaka owa Nakifuma-Naggalama TC.
Abamu ku batono aba DP abaawangudde kuliko; Florence Kyembuga kkansala omukyala akiikirira eggombolola y’e Mpatta ne Ntenjeru-Kisoga tawuni kkanso,
Dan Katongole owa Ntenjeru- Kisoga TC ne Moreen Birungi Nakitto kkansala omukyala owa Mpunge ne Katosi TC.
Kansala 2
We twakoledde amawulire, ng’akulira okulonda mu disitulikiti y’e Mukono akyasoma
ebyavudde mu bululu naye ng’ebyavudde mu bavuganya ku kya ssentebe wa disitulikiti tebinnalangirirwa.
Wabula amawulire okuva mu bifo ebironderwamu byonna gaabadde galaga nga Rev. Peter Bakaluba Mukasa awangudde ebifo ebisinga obungi. Bakaluba yavuganyizza ne Al-haji Haruna Ssemakula owa NRM n’abalala.
E KYOTERA
Patrick Kintu Kisekulo, ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera aliko azzeemu okuwangula ekifo kino. Yawawangudde Charles Lubega Ziriddamu Musoke owa NRM.
Omusasi w’olupapula lwa Bukedde e Masaka, Antonio Kalyango yawangudde akalulu
k’obwakkansala bw’eggombolola ye Lwankoni. Yabadde ku tiketi ya DP nga yafunye obululu 1,994 n’addirirwa John Baptist Nkonge owa NRM eyafunye 984.
E RAKAI
Eno baalangiridde Samuel Kaggwa Ssekamwa abadde talina kibiina nga ssentebe omuggya. Yawangudde n’obululu 22,518 n’addirirwa Godfrey Bajungu Muyambi owa NRM n’obululu 22,286 ng’enjawulo ya bululu 232 bwokka!.
Kansala 1
E KALUNGU
Aba NUP baayongedde okukwata aba NRM awabi bwe baawangudde obwassentebe bwa disitulikiti n’ebifo by’obwakkansala ebisinga obungi.
Ahmed Nyombi Mukiibi owa NUP yalangiriddwa ku buwanguzi n’obululu 21,293 n’amegga ssentebe aliko omulangira Richard Kalyamaggwa Kyabaggu eyafunye
11,805. Bakkansala abaalangiriddwa kuliko; Irene Nanyanzi Mwebe owa NRM yawangudde ekya kkansala omukyala owa Lukaya Town Council ne Ssaalongo
Gerald Kiggundu owa NUP.
E NAKASEKE
Eno owa NRM Ignatius Koomu Kiwanuka ye yalidde ku bwassentebe wa disitulikiti bwe yafunye obululu 29,774 ate Tadeo Wasswa eyamuddiridde nga talina kibiina yafunye 8,865.
William Musisi owa NUP yakutte kyakusatu n’obululu 8,585. Bakkansala abaayiseemu
kuliko; Dan Kasumba owa DP eyawangudde e Nakaseke Town Council n’obululu 624. John Kyeyune (NRM) yawangudde okukiikirira Kapeeka, Richard Mavuuma owa NRM yawangudde n’obululu 1,591 okukiikirira abantu be Semuto Town Council.
Tom Senfuma atalina kibiina yawangudde n’obululu 1,364 okukiikirira Kaasangombe.
Hanifah Namata owa NUP awangudde n’obululu 1,234 okukiikirira abantu b’e Kiwoko
ku disitulikiti y’e Nakaseke.
Joyce Nakyeyune owa NRM yawangudde n’obululu 2,434 okukiikirira abakyala be Kapeeka ku disitulikiti.
E BUTAMBALA
Eno owa NUP Rashidah Namboowa yawangudde Hajji Muhammad Lwoga (NRM). Namboowa yafunye 16,754 ate Lwoga n’afuna 5,856. Mariam Nalubega eyali omubaka omukyala owa Butambala yabuuseeyo n’obululu 588 bwokka.
OWA NRM AWANGULIDDE WATONO E GOMBA
Ssentebe wa disitulikiti y’e Gomba, Godfrey Kiviiri (NRM) yawangudde n’enjawulo ya bululu 53 bwokka. Kiviiri yafunye 16,796 ate Erifazi Mubiru owa NUP n’afuna
16,745.
Wabula waabaddewo akanyoolagano ku kitebe kya disitulikiti awagattirwa obululu, akulira akakiiko k’ebyokulonda Flavia Mujulizi bw’alangiridde Erinah Nakimera mu bukyamu. Kino kyaggye abawagizi ba NUP mu mbeera abaakulembeddwa omubaka omulonde.
ABA NUP 2 BAWANGUDDE BALI MU KKOMERA
LUBAGA NORTH: Ekibiina kya NUP kyeriisizza nkuuli. Jeremia Keeya owa Kasubi - Nakulabye yawangudde, Hakim Kizza owa Lubya naye yawangudde. James Mubiru yawangulidde mu kkomera e Kitalya gye yatwalibwa. Abakyala Ritah Nabukenya yawangudde okuggyako Annet Nambooze Nataaliya ye yabadde tannaba kukakasibwa.
Munnamateeka James Mubiru mu kiseera kino ali mu kkomera yawangudde Lubaga North B ku kkaadi ya NUP.
NAKAWA EAST: Munnamawulire Innocent Tegusuulwa owa Toli mwavu (NUP) yawangudde e Nakawa II. Winnie Nansubuga naye yawangudde ekya Kkansala
omukyala owa Nakawa East D. Faisal Ssebayiga Kibirige yawangudde Nakawa III ate Lillian Nakandi n’awangula eky’omukyala - Nakawa East C. Bonna ba NUP era FDC
ebadde yeefuga ekitundu kyonna baagisiguukuludde.
LUBAGA SOUTH: NUP ewangudde ebifo bya bakkansala byonna omukaaga.
Faridah Nakabugo yawangudde ekya omukyala owa Lubaga South A omuli emiruka; Ndeeba, Lubaga, Nateete ne Busega, ono y’abaddeyo. Rose Kigozi Nalubwama
yawangudde ekya omukyala - Lubaga South B omuli emiruka; Najja I ne
II, Kabowa ne Mutundwe.
Bakkansala abakiika obutereevu; Munir Ssemakula yawangudde ekya Lubaga South II omuli Kabowa ne Ndeeba. Yaggyeeyo Ismail Ddamba abaddeyo.
Ivon Mubiru yawangudde ekya Lubaga South IV omuli Nateete ne Busega ng’aggyeyo Rashid Kibirige owa FDC.
Daniel Ssemmuli yawangudde ekya Lubaga South III omuli Ndeeba ne Lubaga.
Nasur Masaba yawangudde ekya Lubaga South I omuli emiruka; Najjanankumbi
I ne II.
NAKAWA WEST: Bonna aba NUP baayiseemu
MAKERERE UNIVERSITY: Omumyuka wa Loodi Mmeeya Doreen
Nyanjura (FDC) yawangudde. Mikidaadi Muganda (FDC) naye yawangudde ssaako Julius Kateregga owa NUP.
MAKINDYE WEST NE EAST:
Abaawangudde kuliko Wasswa Mwanje, Ivan Wafula, munnamawulire Eremia Masembe, Nusi Kyeswa, Zahra Luyirika, Hellen Namukasa ne Bob Zirintuza.
No Comment