Ssekamatte atadde akazito ku Ssentamu ku by'engatto y'omuteebi

May 12, 2021

OLUTALO lw’okulwanira engatto y’omuteebi wa sizoni eno 2020/21 mu ‘Star Times Uganda Premier League’ lweyongedde ebbugumu wakati wa Samuel Ssekamatte(Soltilo Bright Stars) ne Yunus Ssentamu(SC Vipers).

NewVision Reporter
@NewVision

Egyazanyiddwa mu liigi ya ‘Super’

Soltilo Bright Stars 3-1 Mbarara City

Onduparaka 1-0 Sports Club Villa

Busoga United 1-1 Wakiso Giants

UPDF 1-1 MYDA

Eggulo (Lwakubiri May 11, 2021) Ssekamatte yateebye ggoolo 2 nga Soltilo Bright Stars ekuba Mbarara City 3-1 ku kisaawe ky’e Kavumba n’aweza omugatte gwa ggoolo 12 sizoni eno ekyongedde okuteeka akazito ku Ssentamu akulembedde abateebi ne ggoolo 13.abazannyi ba Soltilo Bright Stars nga basanyukirako Ssekamatte (wakati )olw'obuwanguzi

abazannyi ba Soltilo Bright Stars nga basanyukirako Ssekamatte (wakati )olw'obuwanguzi

Ssekamatte ayongedde okukakasa eggwanga nti ‘Real Sports Agency ne Nile Breweries okumuwa ekirabo ky’omuteebi w’omwezi oguwedde teyali nsobi. Omutindo guno guwadde Soltilo Bright Stars wiini 10 mu mipiira 23 n’obubonero 37 mu kifo ekyomukaaga.

omutendesi Kajoba ku ddyo lwe yayanjula Sentamu ku ttiimu ya SC Vipers

omutendesi Kajoba ku ddyo lwe yayanjula Sentamu ku ttiimu ya SC Vipers

“Omutindo kwendi guvudde ku kukwatagana n’okukolera awamu nga ttiimu era obuwanguzi bwonna tubutuukirako wamu, ekigendererwa kyange kusitukira mu ngatto ya muteebi wa sizoni eno,” Ssekamatte bwe yategeezezza.

Ku Lwomukaaga lwa wiiki eno (May 15, 2021), Soltilo Bright Stars bazzaako kukyalira BUL FC ku kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe.

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});