Muggye ebyobufuzi mu mupiira - Magogo

Mar 22, 2021

PULEZIDENTI wa FUFA, Ying. Moses Magogo agambye nti tajja kukkiriza muntu yenna ayingiza ndowooza za mawanga, eddiini n’ebyobufuzi mu mupiira

NewVision Reporter
@NewVision

Lwakusatu mu za Afrika;

Uganda – Burkina Faso, 10:00 e Kitende

South Sudan – Malawi e Nairobi, Kenya

Yasabye abakungu, abatendesi, abazannyi n’abawagizi banyumirwe bulungi omuzannyo guno n’okulwanyisa abo abagutabiikirizaamu ensonga ezo.

Abazannyi ba Cranes nga batendekebwa

Abazannyi ba Cranes nga batendekebwa

Magogo, eyabaddeko mu kutendekebwa kwa Cranes ku kisaawe kya Vipers e Kitende eggulo, yatadde ekiwandiiko ku mukutu gwa FUFA n’agamba nti abazannyi n’abakungu abali mu Cranes bamanyi bulungi okuyingiza endowooza z’amawanga, eddiini n’ebyobufuzi mu mupiira kya bulabe n’akkaatiriza nti, “Tewali atakimanyi era akikola aba aliko ekikyamu oba si ekyo nga waliwo omulabe w’omupiira akimuyingizzaamu.”

Magogo ng'annyonnyola

Magogo ng'annyonnyola

Ku Lwokusatu, Cranes ettunka ne Burkina Faso mu mupiira ogusunsula abalyetaba mu mpaka za Afrika e Cameroon omwaka ogujja era ng’okulabula kwa Magogo kuddiridde omuwuwuttanyi Khalid Aucho okuggyibwa ku ttiimu olw’ensonga ez’enjawulo.

FUFA yategeezezza nti Aucho yeeyisa mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa bwe yagaana okweyanjulirawo mu nkambi n’alemerako asooke mu bantu be sso nga abazannyi balina okussa mu nkola amateeka agatangira corona.

Abazannyi ba Burkina Faso nabo beetegefu

Abazannyi ba Burkina Faso nabo beetegefu

Waliwo n’oluvuuvuumo nti Aucho muwagizi wa ludda oluvuganya gavumenti era nti aludde ng’assa obubaka obuwaana omu ku beesimba ku Pulezidenti Museveni. Kino kigambibwa nti kyannyiizizza FUFA ne bamuggya ku ttiimu olw’okuyingiza ebyobufuzi mu Cranes.

Mu kampeyini eno, Burkina Faso erina obubonero 8, Uganda 7, Malawi 4 ate South Sudan 3. Ku Ssande, Uganda ekyalira Malawi ate Burkina Faso ekyaze South Sudan.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});