Emikisa gya Magogo okuddamu okulya entebe ya FUFA gyeyerudde
May 08, 2021
Emikisa gya Ying. Moses Magogo okuddamu okuwangula entebe ya FUFA gyongedde okweyerula abasinga ku bamuwagira bwe bawangudde ebifo ebyenjawulo ebimanyiddwa nga Special Interest Groups (SIG) mu kulonda okubaddewo leero ku kitebe kya FUFA e Mengo, Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Muzamir Mayiga
Ebifo munaana okuli ekya baddiifiri, abazannyi, abakyala, Beach soccer, Futsal, abatendesi, Academy kwossa amasomero bye birondeddwa nga omugate abakungu 19 be balonddeddwa.
Nkuuma1
Mu baddaiifiri, Ronnie Kalema, Brian Nsubuga Miiro ne Rosebell Rwamuyamba be balonddeddwa nga tebavuganyiziddwa, mu beach soccer ababaddeyo okuli Deo Mutabaazi ne Anthony Tumwesige be bazzeeyo, Futsal ereese Hamza Jjunju ne Lugemwa Patrick, so nga abazannyi baakukiikirirwa Paul Ssali ne Fred Tamale ate abatendesi baleese Livingstone Kyambadde ne Frank 'Video' Anyau nabo abazze nga tebavuganyiziddwa.
Nkuuma2
Okuvuganya okwamaanyi kubadde mu bagenda okukiikirira amasomero nga wano amyuka pulezidenti wa FUFA, Justus Mugisha ne Miriam Makebba be bawangudde, Academy ziwanguddwa Manisoor Kabugo ne Robert Kiwanuka, abagenda okukiikirira abakyala ye Margret Kubingi n'oweekitiibwa Florence Bagunywa Nkalubo ate abagenda okukiikirira liigi z'abakyala kuliko; Justin Nambafu kwossa Scovia Angeyo owa Lady Doves ng'ono amezze Faridah Bulega abaddeyo.
Nkuuma4
Mu kiseera kino wasigaddeyo kulonda bagenda kukiikirira kiraabu za Big League olwo abakiise 86 abalina okubeera mu ttabamiruka agenda okubeera mu Eastern Region mu mwezi gw'omunaana nga muno mwe bagenda okulondera pulezidenti wa FUFA n'olukiiko lwe oluddako.
No Comment