Cranes ewanduse mu za Afrika: Bakomyewo kasirise
Mar 30, 2021
Cranes yakomyewo kasirise okuva e Malawi gye yakubiddwa bannyinimu ggoolo 1-0 ku Mmande n’esubwa okuzannya empaka z’e Cameroon omwaka ogujja.

NewVision Reporter
@NewVision
Yakomeddewo mu nnyonyi ya Uganda Airlines, gye yapangisa (amagenda n’amadda) era nga yatonnye e Ntebe ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro kya Mmande.
Wabula ttiimu yawagusewaguse, abazannyi bwe baasazeewo okugenda mu beng’anda zaabwe ate abakungu ne bagenda mu wooteeri ya Cranes Paradise e Kisaasi. Bakira abazannyi bategeeza nti bo balina obudde butono obulaba abantu baabwe n’okusanga ennyonyi ezibazzaayo mu kiraabu zaabwe.
Ensonda mu Cranes zaategeezezza nti pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo talina bubaka bwe yawadde bazannyi ng’omupiira guwedde sso nga n’omutendesi Abdallah Mubiru yasirise be cce nga n’olukiiko lw’abaamawulire e Malawi yagaanyi okulubaamu ng’omupiira gwakaggwa.
Magogo yagenda n’omumyuka we, Justus Mugisha, akulira ebyekikugu, Ahmed Juma Midi nga ne kitunzi w’abazannyi era omubaka wa Bukomansimbi South mu Palamenti, Geoffrey Kayemba ‘Solo’ y’omu ku baabadde e Malawi.
Mubiru ye mutendesi ow’ekiseera oluvannyuma lwa FUFA okuyimiriza Johnathan McKinstry, nga Cranes ekoze bubi mu mpaka za Afrika ez’abazannyira mu liigi z’awaka (CHAN) ezaali e Cameroon. Eno Cranes yawandukira mu kibinja ng’ogwasembayo yakubwa Morocco ggoolo 5-1. Morocco yeddiza ekikopo ekyo.
No Comment