Bamusaayimuto be bajja okutuusa Uganda mu nsi ensuubize
Feb 28, 2021
ABAGANDA bagamba nti obugonvu bw’olujegere g’emaanyi gaalwo. Ministule y’Ebyobulamu, oluvannyuma lw’okukakasa nti FUFA yagondera bulungi ebiragiro ebyagiweebwa okutangira corona, yakkiriza aboomupiira okuggulawo liigi endala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAGANDA bagamba nti obugonvu bw’olujegere g’emaanyi gaalwo. Ministule y’Ebyobulamu, oluvannyuma lw’okukakasa nti FUFA yagondera bulungi ebiragiro ebyagiweebwa okutangira corona, yakkiriza aboomupiira okuggulawo liigi endala.
Olukiiko lwa FUFA olufuzi lwakakasizza nti empaka okuli Big League, FUFA Women Super League, FUFA Women Elite League, FUFA Drum ne Stanbic Uganda Cup, zigenda kuzannyibwa.
Kati tulindiridde akakiiko ka FUFA akavunaanyizibwa ku kutegeka empaka, n’aka FUFA Drum okulangirira ennaku empaka zino kwe zinaazannyirwa, n’okufulumya ensengeka za ttiimu.
Wiiki ewedde, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, ng’ali n’abamyuka be; Justus Mugisha, Darius Mugoye, Nakiwala Kiyingi ne bammeba b’akakiiko ak’oku ntikko (Rogers Byamukama, Hamid Juma ne Ronnie Kalema), yasisinkanye bassentebe ba kiraabu za Premier bonna, okutema empenda y’okutambuzaamu kiraabu zino n’okumanya ebizibu ebibanyiga.
Abakungu be baamu era baasisinkye bassentebe ba ttiimu za Big League okulaba engeri liigi yaabwe bw’eneetambula.
TTIIMU Z’ABATO ZITUWA ESSUUBI
Mu ngeri y’emu, tiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Uganda Hippos), yawangudde Burkina Faso ggoolo 5-3 eza peneti, ne yeesogga semi z’empaka za ‘Africa U-20 Cup of Nations’.
Ne Uganda Cubs, ey’eggwanga ey’abatasussa myaka 17 eri mu kutendekebwa ku kisaawe kya FUFA (FUFA Technical Center), e Njeru, nga yeetegekera empaka za AFCON ezigenda okubeera e Morocco. Uganda eri mu kibinja A ne Ivory Coast, Zambia saako Morocco.
Guno mulundi gwakubiri nga Uganda Cubs yeetaba mu mpaka zino, nga mu zasooka e Tanzanian mu 2019, yamalira mu kyakusatu. Wabula nsuubira nti ku mulundi guno tujja kusingako awo.
edwardkalungi05@gmail.com
0705781090/ 779085702
No Comment