Baddiifiri ab'omutindo ogw'ekibogwe bubakeeredde
Mar 10, 2021
PULEZIDENTI wa FUFA, Ying. Moses Magogo alabudde baddiifiri ku mutindo gw'ekibogwe n’okulya enguzi, n'agamba nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya STEPHEN MAYAMBA PULEZIDENTI wa FUFA, Ying. Moses Magogo alabudde baddiifiri ku mutindo gw'ekibogwe n’okulya enguzi, n'agamba nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso.
Magogo, eyabadde akwasa baddiifiri abali ku mutendera gwa FIFA baagi zaabwe ez’omwaka guno, yagambye nti omutindo gwa baddiifiri gukosa ogw'omupiira, ekiyinza okuviirako okufuna abateebi ababi, ne kyampiyoni atatuukiridde.
"Mulina okutumbula omupiira nga mutaputa amateeka n’okugateekesa mu nkola mu butuufu bwagwo. Abamu muli mikwano gyange, naye ekyo tekijja kubeeyimirira singa ogwa ebigezo bya fitinensi oba n’okwatibwa mu musango gwonna ogutyoboola ekitiibwa ky’omupiira," Magogo bwe yabagambye n'abakuutira okubeera abeesimbu, okukola obulungi n'okubeera fiiti.
“Nnawulidde nti waliwo abamu ku mmwe abatuuse ne ku ssa erikubira abakungu ba ttiimu ezimu essimu nga musaba enguzi!" Magogo bwe yeewuunyizza, n'awunzika ng'agamba nti ekyo tebayinza kugigumiikiriza. Baddifiiri 23 nga kuliko abakazi 6 be baafunye baagi. Ku bano kuliko ab'omupiira gwa bbiici 4 n’aba Futsal 2.
No Comment