Njagala ntebe ya FUFA - Allan Ssewanyana
Apr 12, 2021
Allan Ssewanya omubaka wa Makindye West alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku ntebe ya Pulezidenti wa FUFA asigukkulule Ying. Moses Magogo agimazeemu emyaka omunaana.

NewVision Reporter
@NewVision
Allan Ssewanya omubaka wa Makindye West alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku ntebe ya Pulezidenti wa FUFA asigukkulule Ying. Moses Magogo agimazeemu emyaka omunaana.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire ku ofiisi e Makindye ku Mubaraka mwaweeredde Magogo ennaku musaanvu (7) awandiike ebbaluwa eraga ensi nti tagenda kwesimbawo mu kalulu ka August 2021 ku bukulembeze bw’omupiira olw’ensonga nti omupiira agubbye ekimala.
Ssewannya, ssentebe wa kiraabu ya Katwe United agamba nti kano ke kaseera Magogo alekulire kuba gye buvuddeko mu 2017 yatwala Magogo mu kkooti y’ensi yonna ey’omupiira (FIFA) oluvannyuma lw’okutunda tikiti za FUFA ezaali ez’omutemwa gwa Uganda eza World Cup 2014 eyali e Brazil ng’ayagala musimbi mu nsawoye.
Fayiro eno yaggulwawo mu FIFA era okukakkana nga Magogo omusango gumusse mu vvi n’aweebwa ekibonerezo kya myezi ebiri nga teyenyigira mu mupiira gwa wano gwonna ssaako n’okusasula engassi ya bukadde 37.
Ssewannyana yagambye nti ebbanga Magogo ly’amaze mu ofiisi twagala ensonga z’ebyembalirira nazo azinnyonnyole bulungi abantu wabula si kubaboggolera buboggolezi kuba abantu baagala kumanya nsaasanya yaazo era omupiira gwe gukyasinze okuba ne bajeti ensava.
No Comment