Kigambibwa nti, bwe batuuse mu kibira, basoose kuwuga era ennyanja gye yabamiridde. Bino byabadde ku kyalo Mpunge mu ggombolola y’e Mpunge e Mukono. Abaafudde kwabaddeko; Ssanyu Nabirye 11, Jemima Nakyejwe 13 abaabadde basoma P6 ku Mpunge Primary School ne Mariam Nakimbugwe abadde asoma S2 ku Namirembe Church of Uganda e Kabembe.
Abatuuze nga beetegereza emirambo
Kigambibwa nti, baavudde awaka nga bali bataano ne bategeeza bazadde baabwe nti, baabadde bagenze mu kibira ekiriraanye ennyanja okutyaba enku. Abalala be baabadde nabo bagaanye okuwuga bano ne beeyambula ne bayingira eddubi n’ekyaddiridde miranga nga balaba bannaabwe amazzi gabamira.
Betty Nalwanga, nnyina wa Nabirye yagambye nti, muwala we yamutegeezezza nti, yabadde agenda ne banne okutyaba enku n’abakuutira obutalwayo kyokka yabadde alinda enku muwala we z’aleeta, yalabye banne be yabadde agenze nabo nga bakomawo bakaaba ne bamugamba nti, Nabirye n’abalala babiri bafiiridde mu nnyanja.
Shakira Nambooze ne Aisha Gimuno abaasimattuse baagambye nti, bannaabwe baabasabye bawuge bonna bo ne bagaana nga batya amazzi. Baagambye nti, baawuze ogusooka ne bava mu mazzi ne babategeeza nti ennyanja ebadde ebasse kyokka ate oluvannyuma lw’akabanga bazzeeyo era awo amazzi we gaabamiridde.
Baagambye nti, baabalabye nga balaajana ng’amazzi gabamira nga bwe badda ku ngulu naye nga tebalina ngeri yonna gye babataasa okuleka okukuba enduulu naye nga teri ayamba.