Kino kizze oluvannyuma lw’ennyanja Nalubaale okubooga n’esalako oluguudo ekitundu kya kkirommita 6 ne zifuuka nnyanja.
Kati teri mmotoka esobola kuyita mu mazzi kazibe ezo ezinona ebyennyanja okuva ku mwalo gw’e Kasensero. Embeera y’oluguudo luno ekaluubirizza nnyo abantu ababeera mu magombolola asatu okuli Kyebe, Nangoma ne Kasensero Town Council.
Omubaka Lutaaya ku lyato
Abantu tebakyasobola kufuna mpeereza naddala obujjanjabi ng’ate amalwaliro amenene bali Kyotera ne Kakuuto. Abantu kati bakozesa ppikippiki ezibatusaako mu bitundu ebimu oluvannyuma ne bafuna amaaato ne gabongerayo.
Abantu bagamba nti kino kikaluubiriza nnyo obulamu ngabanaabwe baangi bafudde olwobulwa obujjanjabi ate abalala naddala abakyaala abazadde bazaalidde ku maato kuba oludda lwe Kyotera ne Kakuuto yeewali amalwaaliro gebasaobola okufunamu obujjanjabi kyokka olwembeera yaamazzi agasalako oluguudo teri asobola kuyitawo!
Abatuuze kati bakozesa maato mu luguudo
Embeera y’oluguudo luno yalemesezza n’omubaka omulonde ow’essaza ly’e Kakuuto Geoffrey Lutaaya okutuuka mu bitundu by’e Kyebe gy’abadde agenda okulambula abantu.
Ono basoose kumusitula ku ppikippiki kyokka bwe batuuse ewali amawanvu ne bamuteeka ku lyato naye kennyini n’akwata enkasi wabula olwokubeera nti olugeendo luwanvu yasazeewo okusazaamu okutambula kwe n’addayo gy’avudde!
Lutaaya yasabye be kikwatako mu Gavumenti okuvaayo ebeeko ky’ekola ku mbeera eno n’asuubiza n’okugenda ewa Minisita w’ebyenguudo n’entambula Gen. Katumba Wamala ayongere okumutegeeza ensonga y’oluguudo luno.