Laba abakozi b’oku leediyo ne ttivvi abasinze okukikuba mu 2020 n'abalala

Mu bakozi b’oku leediyo ne ttivvi abasinze okukikuba  mu 2020 mwe muli Ssuuna Ben, Simo 'Omunene W'ekibuga', Ssaalongo Richard Kayiira, Charles Sserugga Matovu , Meddie Nsereko Ssebuliba n'abalala mu biti ebirala.

Laba abakozi b’oku leediyo ne ttivvi abasinze okukikuba mu 2020 n'abalala
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ssuuna Ben owa Bukedde FM alaga nti kyakola akitegeera era agoberera ekisaawe ky’okuyimba.

Bashir Kazibwe Mbaziira (Bukedde FM) yaguza abantu leediyo basobole okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga n’ensi yonna. Empeereza ye ekwata abantu omubabiro era anoonyereza nnyo.

Meddie Nsereko Ssebuliba (CBS FM). Mumanyi, musaazisaazi ate ayanjula bulungi ensonga enaateesebwaako.

Simo Omunene w’ekibuga asunsudde bulungi ennyimba za count down mu ‘Kasensero Count Down’.

Dr. Sam Kazibwe (CBS) anoonyereza nnyo era kizibu okumukwata ensobi mu by’akola.
Omulongo Sarah Babirye azzaamu abantu amaanyi ng’aweereza.
Samson Kasumba (NBS TV).Tasoma busomi mawulire wabula akutwala awaabadde amawulire. Ayambala bulungi, mugezi ate teyeerya ntama naddala ku nsonga ezibobbya abawuliriza emitwe.

Charles Kaloli Sserugga Matovu aweereza ‘akabbinkano’ akubiriza bulungi ensonga.
Solomon Kaweesa (NTV) yasiimiddwa olw’Oluganda olunyuvu ng’asaka amawulire.

Richard Kayiira (Bukedde Ttivvi) owa pulogulaamu Fayiro ku mmeeza ayambye okuggyayo obutali bwenkanya.

Siraje Kizito (Bukedde ttivvi) aweereza n’obukugu awatali kwekubiira, era ensonga azoogerako ng’azeekakasa.

Frank Walusimbi (NTV) asoma bulungi amawulire mu bukakkamu n’obuvumu.

Faridah Nakazibwe olwa Pulogulaamu ya ‘Mwasuze Mutya’ ebeera ku NTV, aweereza bulungi n’obukakkamu era obeera toyagala amale.

ABASINZE MU BYOBULAMU

Jane Ruth Aceng minisita w’ebyobulamu abadde musaale mu kulwanyisa Covid 19.
Ssaabasajja Kabaka akubiriza nnyo abantu okubeera abayonjo basobole okwewala endwadde ezisoboka.

Ttiimu yonna eyabasawo ba Entebbe Hospital Grade B. Baawaayo obulamu, ebiseera n’obukugu bwabwe bwonna okujjanjaba abalwadde ba COVID abaasookera ddala mu March.

Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) azze atambulirwako amawulire omwaka gwonna.

Pulezidenti Yoweri Kaguta abadde agobererwa nnyo mu kiseera ky’omuggalo.
Abalala mulimu;
Omuddusi w’emisinde Cheptegei. Maj. Gen. Kasirye Ggwanga, Sheikh Nuhu Muzaata Batte, Brig. Flavia Nalweyiso, Fred Enanga, Pulezident Donald Trump Muhammad Ssegirinya Loodi Meeya Erias Lukwago, Simon Byabakama ow’akakiiko k’ebyokulonda.