Emikolo gy’omwaka guno gyategekeddwa ku kimu ku bifo awaaziikibwa abattibwa ekisangibwa e Lambu, mu disitulikiti eye Masaka okumpi n’ennyanja Nnalubaale.
Omubaka wa Rwanda mu Uganda, Joseph Rutabana yategeezezza nti emikolo gino giyitibwa ‘Kwibuka’ ekitegeeza okujjukira, obumu, n’okuzza obujja.
Tta14
Tta13
Tta18
Yagambye nti ekittabantu kino kyawomebwamu omukono gavumenti eyaliwo mu biseera ebyo n’abakulembeze ab’Ennono n’ekigendererwa eky’okutta ab’eggwanga ly’Abatuusi okwetoloola Rwanda yonna.
Emirambo gy’Abatuusi 10,982 gye gyaziikibwa ekirindi mu bifo bisatu mu Uganda, okuli e Lambu, mu disitulikiti y’e Masaka, e Ggoli, mu disitulikiti y’e Mpigi, ne Kasensero, mu disitulikiti y’e Rakai.
Tta19
Tta17
Tta16
Oluvannyuma lw’olukiiko lw’ekibiina ky’Ensi yonna okuyisa ekiteeso ku kittabantu ekyali e Rwanda, kyasalibwawo wabeewo emikolo egitegekebwa mu Rwanda ne ku bitebe byabwe mu mawanga amalala okujjukira emyoyo gy’abagenzi n’okwefumintiriza ku ngeri y’okwewalamu ekittabantu obutaddamu kubaawo mu ggwanga lino.
Abantu 3336 be baziikibwa e Lambu, 4770, nebaziikibwa e Ggolo, ate 2875, ne baziikibwa e Kasensero.
Tta15
Tta11
Bano oluvannyuma lw’okutirimbulwa ab’akabinja k’Entarahamwe, emirambo gyabwe baginyugunya mu migga okwali okuli ogwa Kagere, ne Nyabarongo, oluvannyuma egyagikulubbusa okutuuka mu nnyanja Nnalubaale.
Olw’obungi bw’emirambo egyagobanga ku mbalama z’enyanja (Lake Victoria”, abantu ab’enjawulo bavaayo ne batandika okugikungaanya nga bwe bagiziika anti abantu batuuka n’okuva ku kulya eby’ennyanja nga babyennyinyala.
Tta10
Tta9
Owek. Mahmood Noordin Thobani y’omu ku bawaayo ettaka e Lambu kwebaziika emirambo era nga ono yeebaziddwa ekyensusso olw’omutima ogw’obuntu era ogulumirirwa gweyayolesa.
Margaret Kedisi, avunaanyizibwa ku by’obutebenkevu n’emirembe eri mu minisitule y’amawanga amalala, ye yabadde omugenyi omukulu mu bikujjuko by’omwaka guno.
Tta8
Tta7
Yasabye omukolo wa Rwanda mu Uganda Joseph Rutabana okufuba okulaba ng’enkolagana wakati wa Uganda ne Rwanda zongera okutinta nti kuba ensi zombi zirina ebintu bingi byezifaanaganya era ebinagatta.
Tta6
Tta5
Ye John Kaliisa, omu ku bammemba ba ‘Umubano’ ekibiina ekigatta Abanyarwanda mu Uganda, yasinzidde ku mukolo gw’okujjukira ekittabantu n’asaba Abanyarwanda obutabuzibwabuzibwa bantu abagala okubajja ku mulamwa nga babaperereza okukyusa erinnya ly’eggwanga lyabwe okufuulibwa ‘Abavandimwe’.
Tta4
Tta3
Tta2
Tta1