Bya Johnbosco Mulyowa
Omubaka omulonde owessaza ly’e Kakuuto, Geoffrey Lutaaya alemereddwa okutuuka e Kasensero gy’abadde agenda okusisinkana abalonzi bw’atuuse ku luguudo olugenda e Kasensero ng’ennyanja Nalubaale ebooze n’esalako oluguudo ekitundu kya kkiromita ttaano!
Embeera eno evudde ku nkuba etonnya era ng’olubadde oluguudo kati kutambulirako maato. Lutaaya naye yeesoze eryato n’akuba enkasi okusobola okumusomosa naye tatuuse gy'abadde agenda.
Alajaanidde bekikwatako mu Gavumenti okuvaayo bayambe ku mbeera y’oluguudo kuba kati abantu mu magombolola asatu okuli Kyebe, Kasensero ne Nangoma tebakyasobola kutambula naddala okufuna obujjanjabi e Kyotera ne Kakuuto.