Bya Johnson Sseruwu
ABAVUBI ku mwalo gw'e Kamuwunga ogusangibwa mu Lwera ku nnyanja Nalubaale e Lukaya mu Kalungu bakubiddwa enkata y'ebikozesebwa mu kuvuba bya bukadde obusoba mu 100 n'ekigendererwa ky'okwongera okusitula embeera zaabwe.
Bano abagettira mu kibiina ki Kamuwunga Fishing Community Sacco Ltd. abakulirwa Ronald Ssemanda ebikozesebwa bino okuli amaato amanene abiri ne yingini zaakwo,obutimba obw'omulembe,obukooti obukuuma omuntu obutagwa mu mazzi n'ebirala bibawereddwa ekitongole ki Food and Agriculture Organization (FAO), mu Uganda ekikulirwa Antonio Querido naye abaddewo okubibakwasa ng'ayambibwako Minisita w'obulimi obulunzi n'obuvubi Vincent Ssempijja.
Minisita Ssempijja ategeezeza nti kawefube gwe baliko wakuddamu kuzuukusa mwalo guno ogwatataganyizibwa ennyo ekiddo n'ebisamba ebyaguziba nga kati bali mu kugwerula n'okuguzimba n'akuutira abavubi okwongera okwewala envuba embi nti basobole okukuuma ennyanja n'obutonde bwazo.