Nkomawo ku kisanja ekyokusatu - Magogo
Apr 06, 2021
PULEZIDENTI wa FUFA Ying Moses Magogo alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo mu kisanja eky’okusatu mu August omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision
Bino abyogeredde ku wooteri ya Jevine Hotel e Rubaga, Kamapala ku mukolo gw’abannamawulire n’abategeeza nga bwagenda okudda mu ntebe.
“ Wadde nga ndi mu palamenti,kino kigenda ku nsobozesa okuwereza omupiira kuba ensonga zaffa zijja nga kunyaguyira okuzanjala mu maaso ga babaka bannange.” Magogo bwe yagambye.
Magogo asabye buli muntu yenna ayagala okwesimbawo mu kifo ky’obwapulezidenti wa FUFA ajje agezese emikisa gye
Magogo abadde mu ntebe okuva 2013 era giweze emyaka munaana bukya Dr. Lawrence Mulindwa alekulira kuba yagaana okwesimbawo ekisanja eky’okusatu.
Ebisanja ebibiri by'afuze abadde awangula nga tavuganyiziddwa era Mujib Kasule, Hon. Muhammad Nsereko, Robert Kabushenga ne Allan Ssewanyana be baali bagala entebe mu kisanja ekiwedde wabula n’abawangula. Okulonda kw’omwaka guno kwa kubeerawo mu August.
No Comment