Bbosa ayagala kusuuza Vipers bubonero

Apr 23, 2021

OLUTALO lw’entikko lwakuddamu okutojjera enkya ku Lwokutaano e Kitende nga bannyinimu aba Vipers bakyaza Express gye baagala okudda mu biwundu.   

NewVision Reporter
@NewVision

Ku Lwokutaano mu Startimes Premier League 

Kyetume-Wakiso Giants 10:00 

Vipers-Express 10:00 

Ensiike eno y’emu ku esalawo ku kikopo kya liigi sizoni eno era Vipers erina enkizo okuwangula ensiike eno olwa ffoomu yaayo ennungi gy’eriko nga mu mipiira etaano   egyisembyeyo bawanguddeko 4 ne bagwa amaliri omulundi gumu.

Frank Kalanda ng'akuba omupiira

Frank Kalanda ng'akuba omupiira

Obunafu bwa Express buli ku buvune obw’abasambi musanvu abaatandika ku ttiimu okuba nti balina obuvune wabula,Wasswa Bbosa atendeka Express mugumu nti ajja kujja akabonero e Kitende. 

“ Tuli beetegefu okweng’anga Vipers wadde ng’eri ku ffoomu. Nkakasa nti batabani bange beetegefu okufuna akabonero era twagala kudda ngulu oluvannyuma lw’okusuula obubonero.” Bbosa bwe yategeezezza. 

 

Express yasemba okuwangula URA FC nga 3/4/2021 ggoolo 3-1 okuva olwo omutindo ne gugwa. Baakubiddwa Solti Bright Stars n’amaliri ga Mbarara City ne SC Villa.’ Mu luzannya olwasooka e Wankulukuku, Express yalemagana ne Vipers ggoolo 1-1 ezaateebebwa Geofrey Lwesibawa (Express) ne Karim Watambara owa (Vipers). 

Vipers y’ekulembedde ekimeeza n’obubonero 43 so nga yo Express ekwata kyakusatu ku bubonero 37. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});