Bya IGNATIUS KAMYA
Mwana muwala Caroline Marcah avuddeyo ne yeegaana ebimwogerwako nti ali lubuto lwa MC Kats gwe baludde ebbanga nga bamusibako.
Marcah nga mukozi ku Bukedde ttivvi okuvaayo okwewozaako kiddiridde omuntu omu okukozesa emikutu gya yintanenti n’ateekayo obubaka obulaga nti Marcah ali lubuto lwa myezi esatu era nga lwa MC Kats.
Yagambye nti yeewuunya abantu abamusibako amatu g’embuzi okumuliisa engo n’abeewuunya okuwandiika ebintu bye batalinaako bukakafu n’agamba nti olw’okuba akimanyi nti abantu abo baba banoonya kubalabawo tajja kubamalirako budde bwe.
Ono agamba nti wadde ekirooto kye ky’akuzaala abaana bataano nga n’essaawa eno alina omwana omu, tasuubira nti agenda kumuzzaako kati.
MC Kats ng’amanya ge amatuufu ye Edwin Katamba akola ku ttivvi emu ng’era azze abeera mu bibooziboozi by’okuganza abawala ab’enjawulo. Yalina mukyala we Fille Mutoni ne baawukana.
Kyokka ekiboozi kya MC Kats ne Caroline Marcah kyatandika mu 2020 bwe yali akyakola ku Spark Tv.