Kasalabecca

Fille Mutoni asanyizzaawo enkolagana ye ne MC Kats

Omuyimbi Fille Mutoni amazeewo enkolagana gy’abadde akyasigazza n’eyali muninkini we manya bba bwasazizzaamu n’enkologana ye mu by’okuyimba ne yeegatta ku bantu abalala. 

Fille Mutoni asanyizzaawo enkolagana ye ne MC Kats
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Ignatius Kamya

Omuyimbi Fille Mutoni amazeewo enkolagana gy’abadde akyasigazza n’eyali muninkini we manya bba bwasazizzaamu n’enkologana ye mu by’okuyimba ne yeegatta ku bantu abalala. 

Omanyi ababiri bano baali baagalana nga balina n’omwana wabula baafunamu obuzibuzibu ne baawukana kyokka MC Kats yali akyasigadde ng’akola nga maneja we wabula ono ku Lwokusatu yavuddeyo n’alangirira nga byonna bwe biweddewo.

Owoolugambo waffe atugambye nti Fille yeegasse ku bantu abalala aba Maritini Entertainment esangibwa mu bitundu by’e Kyaliwajjala. Yagambye nti bano balabise okumutuusa ku biruubirirwa bye. Ono agenda kwegatta ku mukwano gwe  Babarita gwazze ayimba naye ennyimba ez’enjawulo. 

Wabula yeebazizza Kats olw’okumuyiirawo omubiri ebbanga eryo lyonna lyamaze naye n’amutuusa ku ddaala ly’aliko kati ng’omuyimbi ow’amaanyi.