Mu mbeera ey’okugezaako okutangira ensasaanya y’obulwadde buno, ono yatandise kaweefube gwe yatuumye ‘Weekebeze HIV/ AIDS'.
Kampeyini eno yagitongozza ku kisaawe kya Bayern e Munyonyo mu mupiira (Celebrity match) ogwetabidwaamu basereebu abamaanyi mu ggwanga.
Nga ayogerako eri abaamawulire, Kats yategeezezza nga bw'ali eky’okulabirako eri abo bonna abalina obulwadde buno.
‘Kampeyini eno etandikide Munyonyo naye yaakwetoolola eggwanga lyonna era nsaba abantu baveeyo beekebeze tulwanyise obulwade buno,’ bweyategezeza.

Celebrities Lining Up For The Celebrity Match At Munyonyo1