Oba Prima ne Geo Steady bali ku buzannyo ki?

Bya Ignatius Kamya Abadigize bakubye omuyimbi Geo Steady olube ku by’eyali mukazi we Prima Kadarshi gye biggweredde nga bamwogezza ebigambo.Geo Steady ku Mmande omuziki yagukubidde ku bbaala ya Levels mu Kampala. Omanyi Prima yalabibwako e Dubai ne Nkubakyeyo Medi Moore nga balya obulamu ate ne biwulirwa nti badding’anye ne Geo Steady. Kati bwe baamulabyeko kwe kumubuuza ababuulire ekituufu.  

Geo Steady ng'awaana ekyana bwe yabadde akuba omuziki. (Ebif. Ignatius Kamya).
By Kamya Ignatius
Journalists @New Vision
#Prima #Geo Steady #Levels

Bya Ignatius Kamya 

Abadigize bakubye omuyimbi Geo Steady olube ku by’eyali mukazi we Prima Kadarshi gye biggweredde nga bamwogezza ebigambo.

Geo Steady 2022a

Geo Steady 2022a

Geo Steady ng'akubira abadigize omuziki.

Geo Steady ku Mmande omuziki yagukubidde ku bbaala ya Levels mu Kampala. Omanyi Prima yalabibwako e Dubai ne Nkubakyeyo Medi Moore nga balya obulamu ate ne biwulirwa nti badding’anye ne Geo Steady. Kati bwe baamulabyeko kwe kumubuuza ababuulire ekituufu.  

Geo Steady yayawukana ne Prima mu 2020 era Prima n’afuna omukozi w’oku leediyo emu Mr.Henrie gw’abadde apepeya naye. Kyokka olw’ebifaananyi bya Medi Moore ne Prima, waliwo ebizze biyiting’ana nti n’ono yamusuddewo.  

Geo Steady 2022b

Geo Steady 2022b

Omuziki nga gufuukedde omukazi.

Kyokka ku kabaga ka muwala waabwe akaaliwo wiiki ewedde, Geo Steady ne Prima baalabika nga basanyufu nnyo era Prima n’ateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa facebook ng’agamba nti okukuza omwana ne kitaawe wadde nga mwayawukana kimuyamba okuwummuza ebirowoozo.

Ate gano amawulire geewuunyisa abantu kubanga bulijjo Prima abadde tayogera birungi ku Geo Steady ng’amulumiriza n’obutafaayo ku baana. Oba kati  badding’anye?  Nze naawe.