Owa Bodaboda atabuse n'omusaabaze lwa 5000/- ne bagwang'ana mu malaka

Enkumi ttaano (5000) zitabude owa Bodaboda n'omusaabaze ne bagwangana mu malaka....

Owa Bodaboda ng'agudde omusaabaze mu malaka
By Ernest Kyazze
Journalists @New Vision

Bano kigatto waffe abaguddeko mu bitundu by'e Wampeewo okumpi n'essomero lya Wampeewo Primary School erisangibwa mu Kasangati town council ku luguudo lwa Gayaza Road ng'onaatera okutuuka ku kisaawe.

Kasitoma omukazi owa Bodaboda gwe yagudde mu malaka bakira alumiriza nti bakkiriziganya okumuvuga okuva mu bitundu bya Kampala ng'alina okumuwa ssente 20,000/- kyokka owa Bodaboda bw'amaze n'amwefuulira nti amwongere 5000/ ye kwe kumuwa zaabadde nazo 20,000/- ekikyankalanyizza owa Bodaboda n'amugwa mu malaka.

Ekiddiridde kwesika bitogi ekintu ekisombodde abantu ne babataasa.