Ntale asuubizza okuzaalira olulenzi lwe omwaka ogujja

Omwaka guno, yakyaza omwami we Vincent Kalibbala mu maka ga bakadde be era ne basuubiza okukola emikolongyonna mu bbanga eritali lya wala. 

Ntale asuubizza okuzaalira olulenzi lwe omwaka ogujja
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Mawulire #Kasala #Irene Ntale #Kalibbala

OMUYIMBI Irene Ntale ayayogedde ku by’okuzaala omwaka ogujja.

Omwaka guno, yakyaza omwami we Vincent Kalibbala mu maka ga bakadde be era ne basuubiza okukola emikolongyonna mu bbanga eritali lya wala. 

Kati ali mu nteekateeka za kuzaalira mulenzi we. Agambabnti ng’oggyeeko eky’okuba nti abawagizi be bamubanja nnyo omwana, naye kennyini ayagala nnyo abaana era omwaka ogujja, eky’okuzaala akitadde
mu by’alina okukoleramu.

Ntale ne Kalibbala ennaku zino balabwako bombi mu Klezia mu kusaba era abamu bagamba nti bandiba nga beetegekera mbaga.