Prima Kardash , eyali muninkini wa Geosteady ali bulala n'omuyimbi Zuli Tums

Mwanamuwala Prima Kardash, eyali muninkini wa Geosteady ali bulala n'omuyimbi ate nga polodyusa Zuli Tums.

Omuyimbi Zuli Tums ne Prima nga bali bulala
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mwanamuwala Prima Kardash, eyali muninkini wa Geosteady ali bulala n'omuyimbi ate nga polodyusa Zuli Tums.

Ababiri bano ennaku zino tebateng'ana, bali bulala ekireeseewo ebibuuzo mu bantu ng'abamu bagamba nti oba Prima yeesozze situdiyo ate abeemimwa egy'oluwewere ne babityebeka nti kirabika Prima yeetega kuba kati ali 'single' oba si kyo nga 'fan' wa Zuli Tums......

Kiddiridde Prima okussaayo ekifaananyi ng'ali mu mmotoka ne Zuli Tums n'akiwerekeza obubaka obusoma nti, " Nnabadde nzisa empewo y'emu ne Zuli Tums" olwo aba sosolo mediya ne batandika okussako obubaka nti ababiri beesaana ate abaalabise okwegwanyiza Zuli ne balumba Prima nti yeesonyiwa omwanattu!

 

Zuli ne Prima nga beekubya 'selefi'

Zuli ne Prima nga beekubya 'selefi'