Engeri Bizonto gye bizze byerandiza mu katemba

BIZONTO okuli Julius Sserwanja (Kidomoole), Mbabali Maliseri Giant Zonto, Tony Kyambadde be ba Ssabazonto ne Kakooza kazonto akagezi wamu ne Annabel Kisakye, nnabazonto beesungiddwa abawagizi baabwe ku mulundi guno nga bali layivu ku siteegi.

Engeri Bizonto gye bizze byerandiza mu katemba
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mu beesungiddwa mwe muli Julius Sserwanja (Kidomoole) ng’ono ye Ssaabazonto abakulira; Alina emyaka 35 era ye bwongo obuli emabega w’okuyiiya n’okuwandiika bye bakola.

Bamuzaala Nkumba ku lw’e Ntebe, nnyina ye Sarah Wanyana, ate kitaawe yafa. Musajja muyivu nga yasoma byamawulire era amaze emyaka 10 ku leediyo nga y’avunaanyizibwa ku kuyiiya obuzannyo obukolebwa mu pulogulaamu y’oku makya ng’akola n’Omulangira Ndausi wamu ne Mbabaali Maliseeri.

Amaze ebbanga ng’azannya katemba mu bibiina omuli ekya Christopher Mukiibi ne mu Kayimbira Dramactors.

Maliseeri Mbabaali Bogere: Azaalibwa Bugerere Nsiima Kibati mu Nazigo kyokka ng’asibuka Bulemezi e Mpumudde Bbowa. Munnakatemba era amaze emyaka munaana ng’akola pulogulaamu Binsangawano n’Omulangira Ndausi wamu ne Sserwanja.

Ng’oggyeeko okuzannya mu Bizonto, muzannyi wa katemba mu bibiina eby’enjawulo kw’agatta n’okwogera ku mikolo.

Kyambadde Tonny akazonto akagezi azaalibwa Mukono Nassuuti. Yasomera ku Ham Mukasa Primary School n’agenda ku Central View high school Mukono. Okuzannya katemba yakutandika mu 2019.

Kisaakye Annabel azaalibwa Masaka nga yatandika okuzannya mu 2018 ne yeegatta ku Bizonto mu 2020 ng’omukazi yekka. Bategese ekivvulu kyabwe ekisookedde ddala e Lugogo nga November 11.