Ye bw’atandika okunyeenya ‘ekikolo’ wamma toyagala amale. Nwagie w’osomera bino ng’ategese ekivvulu kyatuumye Winnie Nwagie Live in Fire Concert ekigenda okubeera e Lugogo Cricket Oval nga September 9, 2022. Maneja Musa Kavuma owa KT Events yakikuttemu. Nwagie akolera wansi wa Swangz Avenue.
Ono alina ennyimba nga: Katono Katono, Embeera, Gwe nnoonya, Kyowulira, Magic, Kano Kozze, Oli Kirabo, Munange n’endala nnyingi.
Leero tukuleetedde ebikulu 9 by’obadde tomanyi ku mwana muwala Winnie Nwagi.
Winnie Nwagi yazaalibwa nga July 20, 1989 e Namasuba ku Ntebe Road. Eno gye yakulira obulamu bwe bonna ne bazadde be.
|
3. Winnie Nwagi bamuzaala wa? |
Winnie Nwagi muwala wa Mw. Henry Kabiito ne Muky. Sarah Namuddu. Bano baabeera ne muwala waabwe eyakula ne mwannyina Bob Lwanda okutuusa lwe yatandika ebidongo ebimufudde ensonga.
4. Winnie Nwagi yasomera wa?
Winnie Nwagi yasomera ku ssomero lya St. Agnes Nagglama Primary School gye yatuulira ebibuuzo bya PLE. Bwe yava eno yeegatta ku East High school gye yatuulira ebibuuzo bya S4 (UCE) n’oluvannyuma n’agenda ku Migadde College School. Eno teyamalako oluvannyuma lw’okufuna olubuto n’azaala muwala we.
5. Nwagi alina abaana bameka?
Winnie Nwagi alina omwana omu ayitibwa Destiny Valerie Mirembe gwe yazaala ng’akyasoma ekyamuleetera obutamalako S6.
Winnie Nwagie ng'amema
6. Winnie Nwagi alina omusajja?
Ebintu bya Winnie Nwagie n’abasajja bibuzaabuza. Kigambibwa nti yalinako omuvubuka General C Zabu omuyimbi wa Raggae kyokka n’omwaka tegwawera ne baawukana. Bangi beewuunya nga beebuuza ku ngeri gyayambalamu ne ffiga ye gy’ayinza okubeera awo nga talina musajja amuli bbize.
7. Winnie Nwagi yatandika ddi okuyimba?
Winnie Nwagi yatandika okuyimba ng’akyali mu siniya. Y’omu ku bawala abaali ab’akabi mu kkwaaya y’essomero. Oluvannyuma yatandika okuyimba mu bivvulu by’amasomero n’obubaga gye yatundira ennyimba ze. Kyokka ono okumanyika ennyo kwatandikira mu mpaka za Coca Cola Rated Next Competition gye yalagirako ensi nti alina ekitone.
8. Yeegatta ddi ku Swangz Avenue?
Oluvannyuma lw’okukuba omuziki n’okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi mu mpaka za Coca Cola Rated next competition, Ekitone kya Winnie Nwagi´s kyalabibwa abantu bangi omwali n’aba Swangz Avenue. Baamutuukirira mu 2016 ne bakutula naye ddiiru gye baddamu okuzza obujja mu 2020.
9. By’otomanyi ku nnyambala ya Winnie Nwagi.
Winnie Nwagi alabika adda ku Sheebah mu kwesala obukete. Okumanya oluuusi kimusukako, gye buvuddeko abakuuma ddembe ku minisitule ya Internal Affairs baamusindiikiriza ne bamugoba nga bagamba nti yali ayambadde mu ngeri eyeesitaza.
Kyokka mu kwanukula yagamba nti tayinza kudda ku socia Media okwanukula abamulumba n’agamba nti alina eddembe okwambala by’ayagala okuggyako ng’omuntu amupangisizza amulagidde eky’okwambala.