Ada eyakuyimbira ennyimba omuli "I will sing, Congratulation, Cheta, Jesus (you are able), Only you Jesus, I testify, I Overcame, I will sing (refreshed) n'endala nnyingi essaawa yonna asuubira okutonnya mu Uganda.
Ono yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa 'Twitter' obugamba nti; "Uganda family, mbeesunze byansusso, twesangeyo e Lugogo.."
Ekivvulu kye kimu kugenda kubaako abayimbi ba Gospel bangi mu Uganda, wamu ne ba DJ ba 'Gospel' nga tiketi esookerwako ya 30,000 ate ey'ekikungu (VIP) ya 150,000.
Ekivvulu kiwagiddwa Spirit Tv, New Vision wamu ne kkampuni endala.