Acram Gumiisiriza ono ye bba wa Dr.Kulthum Nabunnya omujja asiimye eyali bba wa mukyala we omugenzi sheikh Noor Muzaata Batte olw’okulabirira obulungi mukyala we kati n’amusabira katonda amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Kulthum yagambye nti yasisinkana abasajja bangi abaali bamusaba obufumbo nga Muzaata afudde era bangi be yagoba, Acram n’ayitawo olw’okumulabamu ebisaanyizo byonna bye yali anoonya mu ngeri eno n’ayanukula abaali babijweteka nti yafuna Acram nga Muzaata akyali mulamu.