David Lutalo omwaka 2023 aguyingiridde mu ssaala ku kkanisa ya Paasita Bugembe
Jan 02, 2023
Abalokole beeyiye mu bungi mu kusaba kw'okusibula omwaka 2022 nga bayingira 2023 ku kkanisa ya The Worship House e Nansana ey'omusumba Wilson Bugembe.

NewVision Reporter
@NewVision
Mu bataalutumidde mwana mwe mwabadde n'omuyimbi David Kitalo, ababaka ba Palamenti, omugagga wa Big Zone e Nansana n'abalala era wano Bugembe yabasabidde omukisa ogw'obuwangaazi.
Ku ssaawa 5 n'eddakiika 47 Bugembe yalinnye ku siteegi n'atandika okulyowa abantu emyoyo ng'eno bw'abala eddakika ezibulayo olwa olwaweze ssaawa 6 n'alagira abantu bonna okuteekako obutooki bw'essimu zaabwe baziwanike mubbanga nga bwe baleekaanira waggulu mu bigambi bya Happy New Year 2023 n'okwebaza Katonda.
Omusumba Wilson Bugembe weyatandikidde okusabira egwanga Uganda okubuganamu emirembe nebyamagero ebitakyukakyuka era nasaba abakulembezze okwerekerezza byona batunuulire ensi yaffe Uganda ebeeremu emirembe.
Bugembe ne David Lutalo baasanyusizza abantu n'oluyimba lwabwe olupya.
Muntandikwa wabaddewo okutenderezza omutonzi mukuyimba era wabaddewo munnansi wa South Korea eyayimbye ennyimba mu lulimi Oluganda ekyasanyusizza ennyo abantu.
Lutalo ng'ali mu ssaala ewa Bugembe
Wano wazzeewo omusumba era munnansi wa South Korea eyabuulidde ng'ono obwedda ayogera lulimi lw'ewaabwe nga waliwo addamu mu Luzungu ate ne wabaawo n'avvuunula okuzza mu Luganda. Omusumba ono yasiimye nnyo Uganda olw'erina n'eddembe ly'okusinza.
Omusumba eyavudde e South Korea ng'abuulira
No Comment