Bano bombi baalabidwako ku mukolo gwa Sheikh Guggwa ogwokwebaza Katonda okumuwa obw'obumyuka bwa Ambaasada mu makaage e Nakwero-Kira Municipality.
Bano babadde bayakaayakanye mu ngoye ekika ky'ekitenji ezaabadde zifaanagana ekintu ekyaleetedde abaabadde ku mukolo okusasamala nga babeekenneenya.
