Kasalabecca

Irene Ntale ne Lillian Mbabazi bafuukudde abadigize ku Mestil

ABADIGIZE abagenze ku Mestil ku wiikendi beerabiddeko ku kye bayita ennyonza ku kukuba omuziki oguli layivu. 

Irene Ntale ne Lillian Mbabazi bafuukudde abadigize ku Mestil
By: Ignatius Kamya, Journalist @New Vision

ABADIGIZE abagenze ku Mestil ku wiikendi beerabiddeko ku kye bayita ennyonza ku kukuba omuziki oguli layivu. 

Omanyi eno waabadeyo Irene Ntale ne Lillian Mbabazi abaatwaliriza abantu mu kawungeezi nga babakuba omuziki gw’omukwano ng’eno bbo bwe beemisa ku myenge gy’ebbeeyi n’okusika emisito gy'ennyama. 

Baabadde mu kivvulu kye bayise Soul and Rnb Safari nga bakira buli lwe basuulamu akayimba akakwatayo ng’eno abadigize bwe bakoona engatto wansi okulaga okunyumirwa kyokka ate waliwo obuyimba obwayitiridde okubanyumira era bangi baalabidwako nga basituse ng’eno bwe bakoona dansi. 

Irene Ntale Ng'ayimba Ku Soul And Rnb Safari Ku Mestil (1)

Irene Ntale Ng'ayimba Ku Soul And Rnb Safari Ku Mestil (1)

Lillian Mbabazi Ng'ayimba Ku Soul And Rnb Safari Ku Mestil

Lillian Mbabazi Ng'ayimba Ku Soul And Rnb Safari Ku Mestil

Tags: