Rema ne bba Hamza bajaguzza amazaalibwa ga muwala waabwe Aaliyah
Nov 07, 2023
“Omusanyusa waffe okuviira ddala kumakya okutuusa lwe weebaka. Nsaba Allah akukulembere yonna gy’oliba oli emirembe gyonna."

NewVision Reporter
@NewVision
Omuyimbi Rema Namakula, mukyala dokita, Hamza Ssebunnya, atenderezza bbebi we, Aaliyah Ssebunya eyawezezza emyaka 2 olunaku lw'eggulo, olw’okubeera omwana amuleetera essanyu eppitirivu mu bulamu bwe ate n’amwebaliza Katonda olw’okumuwa obulamu.
Aaliyah ne kkeeki.
Mu byambalo ebyeru ebirimu obutolobojjo obuddugavu nga banekaanekanye, baasazeeko yintaneeti n’ebifaananyi omwalabikidde Rema, bba Ssebunya, bbebi Aaliyah, mukwano gwe nfanfe, Evelyn Namulondo ssaako muwala we omukulu, Aamal Musuuza.
Namulondo, nfanfe wa Rema n'abaana, mu kifaananyi.
“Omusanyusa waffe okuviira ddala kumakya okutuusa lwe weebaka. Nsaba Allah akukulembere yonna gy’oliba oli emirembe gyonna. Nkwagala nnyo ebiruma. Nkwagaliza amazaalibwa amalungi Aaliyah Sebunya. Weebale kufuula nnaku zaffe entangaavu, “ bw’atyo Namakula bwe yawumbyewumbye obubaka bwe ku mukutu gwe ogwa Instagram. (Ebifaananyi bya Rema Namakula ku yintaneeti).
Dokita ne muwala we mu kifaananyi nga banyumye.
No Comment