Kasalabecca

Kabaka w'omuzindaalo MC Kats asiibudde mu sitayiro!..

‘KABAKA’ w’omuzindaalo (King of the Mic), asiibulidde mu sitayiro.

Kabaka w'omuzindaalo MC Kats asiibudde mu sitayiro!..
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

‘KABAKA’ w’omuzindaalo (King of the Mic), asiibulidde mu sitayiro.

Ono ye MC Kats, kafulu w’okubeera kalabaalaba w’emikolo ng’omulimu guno agukoledde emyaka egiwera.

Yategese ppate, esiibula akazindaalo ku Nexus Lounge e Najjeera.

Abayimbi bangi baabaddewo okusanyusa abazze okumusiibula ng’awanika omuzindaalo okugulekera abalala.

Wabula eky’ennaku, musajjamukulu ono abakungu okuva mu URA baamusazeekonga baagala okumusolooza.

Gye byaggweeredde ng’ekivvulu kye yategese nga kya kusolooza afunemu ku kasente ng’asiibula, abadigize baamalirizza bayingiridde bwereere.

Tags:
MC Kats
Nexus Lounge
Najjeera