Kasalabecca

Omukazi afumba ewange namusisinkana mu bbaala - Kabakko

Omuyimbi Kabako ne mukyala we Jazira Dumuna omwaka ogujja bagenda kujaguza emyaka kkumi bwe ddu nga bali mu mukwano. 

Omukazi afumba ewange namusisinkana mu bbaala - Kabakko
By: Frank Lukwago, Journalists @New Vision

Omuyimbi Kabako ne mukyala we Jazira Dumuna omwaka ogujja bagenda kujaguza emyaka kkumi bwe ddu nga bali mu mukwano. 

Abaagalana bano era bagenda kujaguza emyaka esatu egy’obufumbo mu April wa 2024. Kyokka Kabakko yabikudde ekyama nti mukyala we yakkiriza ekiteeso kye eky’obufumbirwa omulundi gwe baasooka okusisinkana. 

Mu kiseera ekyo Kabakko yali akola nga kalabaalaba mu bbaala ya Deejavu kati eyagwa nga Dumuna y'omu ku bali mu 'audience'. Dumuna yasendebwasendebwa amaanyi Kabakko ge yali akozesa ng'akola omulimu gwe.

"Nze nali emcee wa buli lunaku ku bbaala ya Deejavu, nga nfuna 20,000/- buli lunaku. Nzijukira ekiro ekyo; nali njogera, era omuwala ono okuva mu balabi yayagala nnyo amaanyi gange ne byenkola. Yajja n'ammnsizaako ssente mu ngewri y'okunfuuwa. Yansanyusa era oluvannyuma, twasisinkana emabega w’ebbaala eyo ne musaba abeera mukyala wange era n'akkiriza kw'olwo lwennyini," Kabakko bwe yategeezezza mu yintavuyu ng'ali ku ttivvi emu.

Tags:
Kabakko
Dumuna